Old/New Testament
Enteekateeka ya Dawudi ku bikwata ku Yeekaalu
28 (A)Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.
2 (B)Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. 3 (C)Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’
4 (D)“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. 5 (E)Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. 6 (F)Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe. 7 (G)Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’
8 (H)“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.
9 (I)“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna. 10 Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”
11 (J)Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira. 12 (K)Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe. 13 (L)Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama. 14 Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi; 15 (M)n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo; 16 (N)n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza; 17 (O)n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza; 18 (P)n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.
19 (Q)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”
20 (R)Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde. 21 (S)Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”
Ebirabo eby’Okuzimba Yeekaalu
29 (T)Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda. 2 (U)Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo. 3 (V)Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange; 4 (W)ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe, 5 n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
6 (X)Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. 7 (Y)Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda. 8 (Z)Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. 9 (AA)Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.
Essaala ya Dawudi
10 Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti,
“Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda,
Katonda wa jjajjaffe Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
11 (AB)Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,
n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,
kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.
Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,
era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
12 (AC)Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,
era ggwe ofuga ebintu byonna;
omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza
era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza
era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
14 “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. 15 (AD)Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. 16 Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. 17 (AE)Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. 18 Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. 19 (AF)Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
Sulemaani atikirwa okuba kabaka
21 (AG)Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. 22 (AH)Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.
Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. 23 (AI)Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. 24 Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.
25 (AJ)Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
Okufa kwa Dawudi
26 (AK)Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. 27 (AL)Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. 28 (AM)N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
29 (AN)Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, 30 era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.
24 (A)Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”
25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”
27 (B)Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 (C)Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 (D)Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”
30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 31 (E)Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 (F)Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”
34 (G)Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.
Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo
35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”
36 (H)Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”
37 (I)Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38 (J)Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.
39 (K)Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”
40 (L)Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
41 (M)Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.