Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 19-21

19 (A)Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira. Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa.

Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza, (B)abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?” Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.

Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.” (C)Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi. (D)Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.

Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.

10 Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli. 11 (E)Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni. 12 Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere. 13 Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”

14 Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 15 Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.

16 Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.

17 (F)Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa. 18 Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.

19 Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.

Labba Kiwambibwa

20 (G)Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. (H)Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.

(I)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.

(J)Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.

Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.

Okubalibwa kw’Abayisirayiri

21 (K)Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri. (L)Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”

(M)Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. (N)Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.

Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu. Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.

Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”

(O)Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti, 10 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”

11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: 12 (P)emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”

13 (Q)Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”

14 (R)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. 15 (S)Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.

16 (T)Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.

17 (U)Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”

18 (V)Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 19 Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.

20 (W)Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka. 21 Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.

22 Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”

23 Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.” 24 Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”

25 Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu. 26 (X)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.

27 Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo. 28 Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo. 29 (Y)Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. 30 Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.

Yokaana 8:1-27

Omukazi Eyakwatibwa ng’Ayenda

(A)Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni. (B)Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza. Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina. Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda. (C)Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?” (D)Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira.

Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe. (E)Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.” N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe. Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina. 10 Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”

11 (F)Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.”

Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”

Yesu gwe Musana gw’Ensi

12 (G)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

13 (H)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”

14 (I)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (J)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (K)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (L)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (M)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”

19 (N)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”

20 (O)Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. 21 (P)Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”

22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ” 23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno. 24 (R)Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”

25 Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”

Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza? 26 (S)Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”

27 Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.