Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 7-9

Ekika kya Isakaali

(A)Abaana ba Isakaali baali bana:

Tola, ne Puwa, ne Yasubu, ne Simuloni.

Batabani ba Tola baali

Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri, era be baali abakulu b’enda zaabwe. Ku mulembe gwa Dawudi, bazzukulu ba Tola baali abasajja abalwanyi nga bawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.

Uzzi n’azaala

Izulakiya.

Izulakiya n’azaala

Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri ne Issiya, era bonna baali bakulu. Okusinziira ku nda yaabwe, baali basajja b’amaanyi era nga balwanyi ba ntalo, nga balina abakyala n’abaana bangi, nga bawera abasajja emitwalo esatu mu kakaaga.

Baganda baabwe bonna awamu abaali ab’ekika kya Isakaali baali abasajja abalwanyi emitwalo munaana mu kasanvu bonna awamu.

Ekika kya Benyamini

(B)Benyamini yalina abatabani basatu,

Bera, ne Bekeri ne Yediyayeri.

Batabani ba Bera baali

Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi ne Iri, be baana bataano, ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.

Batabani ba Bekeri baali

Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi ne Alemesi. Bano be baali abaana ba Bekeri ate nga bonna bakulu b’enda zaabwe. Mu kubalibwa baali abasajja abalwanyi emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri mu bibiri.

10 Mutabani wa Yediyayeri,

yali Birukani,

ate batabani ba Birukani nga be ba

Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi ne Akisakali. 11 Bano bonna baali bazzukulu ba Yediyayeri ate nga be bakulu b’enda zaabwe. Era baali abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri.

12 Abasuppimu n’Abakupimu baali bazzukulu ba Iri, ate ng’Abakusimu bazzukulu ba Akeri.

Ekika kya Nafutaali

13 (C)Batabani ba Nafutaali baali

Yaziyeri, ne Guni, ne Yezeri ne Sallumu, era bano be bazzukulu ba Biruka.

Ekika kya Manase

14 (D)Bano be baali bazzukulu ba Manase:

Asuliyeri ne Makiri mukyala we Omwalamu. Be yamuzaalira. Makiri n’azaala Gireyaadi. 15 (E)Makiri n’awasa okuva mu Bakupimu n’Abasuppimu, n’erinnya lya mwannyina nga ye Maaka.

Omuzzukulu omulala yali Zerofekadi, era ng’alina baana ba buwala bokka.

16 Maaka mukyala wa Makiri n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Peresi. Muganda we ye yali Seresi, nga ne batabani ba Seresi be ba Ulamu ne Lekemu.

17 (F)Mutabani wa Ulamu yali

Bedani,

era bano nga be batabani ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase. 18 (G)Mwannyina Kammolekisi n’azaala Isukondi, ne Abiyezeeri ne Makula.

19 Batabani ba Semida baali

Akyani, ne Sekemu, ne Liki ne Aniyamu.

Ekika kya Efulayimu

20 (H)Mutabani wa Efulayimu yali

Susera, mutabani wa Susera nga ye Beredi, mutabani wa Beredi nga ye Takasi,

mutabani wa Takasi nga ye Ereyadda,

mutabani wa Ereyadda nga ye Takasi, 21 mutabani wa Takasi nga ye Zabadi,

ate mutabani wa Zabadi nga ye Susera.

Efulayimu yalina batabani be abalala babiri, nga be ba Ezeri ne Ereyaddi abattibwa mu nsi ya Gusi nga bagenze okubba (okunyaga) ente. 22 Efulayimu n’abakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajja okumukungubagirako. 23 Awo Efulayimu n’amanya mukyala we, mukyala we n’azaala omwana owoobulenzi omulala, n’amutuuma Beriya kubanga ennyumba ye yatuukibwako emitawaana. 24 (I)Ne muwala we yali Sera, era oyo yazimba Besukoloni ekya eky’emmanga n’eky’engulu, ne Uzzemmuseera.

25 Efulayimu yalinayo n’omutabani omulala erinnya lye Leefa, nga ye kitaawe wa Lesefu,

Lesefu n’azaala Teera, Teera n’azaala Takani,

26 Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi,

Ladani n’azaala Erisaama, 27 Erisaama n’azaala Nuuni,

Nuuni n’azaala Yoswa.

28 (J)Ettaka lyabwe n’ebifo we baasenga byali Beseri n’obubuga obutono obukyetoolodde, ebuvanjuba w’e Naalani, ebugwanjuba w’e Gezeri, n’obubuga bwakyo, n’e Sekemu n’obubuga bwakyo, okutuukira ddala ku Azza n’obubuga obukyetoolodde. 29 (K)Bazzukulu ba Yusufu, Abamanase, mutabani wa Isirayiri babeeranga Besuseyani, n’e Taanaki, n’e Megiddo, n’e Doli n’obubuga obwali bubiriranye.

Ekika kya Aseri

30 (L)Abaana ba Aseri baali

Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe.

31 Batabani ba Beriya baali

Keberi ne Malukiyeeri, ne Malukiyeeri nga ye kitaawe wa Biruzayisi.

32 Keberi n’azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu ne mwannyinaabwe Suwa.

33 Batabani ba Yafuleti baali

Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi.

34 Batabani ba Semeri baali

Aki, ne Loga, ne Yekubba ne Alamu.

35 Batabani ba muganda we Keremu baali Zofa, ne Imuna, ne Seresi ne Amali.

36 Batabani ba Zofa baali

Suwa, ne Kaluneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Imula, 37 ne Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani ne Beera.

38 Batabani ba Yeseri baali

Yefune, ne Pisupa ne Ala.

39 Batabani ba Ulla baali

Ala, ne Kanieri ne Liziya.

40 Bano bonna baali bazzukulu ba Aseri, abamu nga bakulu ba nda zaabwe abalala nga basajja baakitiibwa, n’abalala nga balwanyi abazira, n’abalala nga baami bakulu ddala mu bitiibwa byabwe. Abasajja abalwanyi bonna awamu bawera emitwalo ebiri mu kakaaga.

Ekika kya Benyamini

(M)Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye,

Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;

Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.

(N)Batabani ba Bera baali

Addali, ne Gera, ne Abikudi, (O)ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.

(P)Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:

Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.

Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala. Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu, 10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe. 11 Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.

12 (Q)Batabani ba Erupaali baali

Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde, 13 (R)Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.

14 Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, 15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi 16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,

17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi, 18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.

19 Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, 20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, 21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.

22 Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, 23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, 24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, 25 Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.

26 Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, 27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.

28 Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

29 (S)Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni,

ne mukyala we ye yali Maaka. 30 Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu, 31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri 32 ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.

33 (T)Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.

34 (U)Mutabani wa Yonasaani yali

Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.

35 Batabani ba Mikka baali

Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.

36 Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza. 37 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.

38 Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba

Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.

39 Batabani ba muganda we Eseki baali

Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu. 40 (V)Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala.

Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.

Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni

(W)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. (X)Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.

Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:

(Y)Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.

Ku Basiiro,

Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.

Ku bazzukulu ba Zeera,

Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.

Ku bazzukulu ba Benyamini,

Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,

ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu,

ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli,

ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.

Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.

10 Ku bakabona abaakomawo kwaliko

Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,

11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;

12 (Z)ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.

13 Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.

14 Ku baleevi kwaliko:

Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,

15 (AA)ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,

16 (AB)ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni;

ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.

17 (AC)Abaggazi ba wankaaki baali,

Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu; 18 (AD)be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.

19 (AE)Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.

20 (AF)Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.

21 (AG)Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.

22 (AH)Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.

Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali. 23 Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema. 24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo, 25 (AI)era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu. 26 (AJ)Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda. 27 (AK)Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.

28 Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo. 29 (AL)Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa. 30 (AM)Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa. 31 Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo, 32 (AN)era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.

33 (AO)Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.

34 Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

Enda ya Sawulo

35 (AP)Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni,

n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka, 36 ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako, 37 ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo. 38 Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.

39 (AQ)Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.

40 (AR)Mutabani wa Yonasaani ye yali

Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.

41 Batabani ba Mikka baali

Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.

42 Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza. 43 Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.

44 Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe:

Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.

Yokaana 6:22-44

Abantu Banoonya Yesu

22 (A)Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 (B)Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.

25 (C)Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”

26 (D)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (E)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”

28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”

29 (F)Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”

30 (G)Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 (H)Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”

32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 (I)Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”

34 (J)Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”

35 (K)Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 (L)Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 (M)Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 (N)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 (O)Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”

Yesu y’Emmere ey’Obulamu

41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 (P)Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”

43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 (Q)Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.