Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 19-21

Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa

19 (A)Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama. (B)N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. (C)Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, (D)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. (E)Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”

(F)Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.

Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 (G)“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 (H)Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 (I)Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 (J)Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 (K)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.

17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 (L)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 (M)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

20 (N)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. 21 (O)Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma
    era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe
    nga bw’odduka.
22 (P)Ani gw’ovumye era n’ovvoola?
    Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,
era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?
    Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 (Q)Ojereze Mukama
    ng’oyita mu babaka bo.
Era ogambye nti,
    “Nninye ku ntikko z’ensozi
n’amagaali gange amangi,
    ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.
Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu
    n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.
Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike
    ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,
    n’enywa amazzi gaamu.
Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,
    nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”

25 (R)“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?
    Mu biro eby’edda nakiteekateeka,
era kaakano nkituukirizza,
    olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
    okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 (S)Ababituulamu tebakyalina buyinza,
    batekemuse era baswazibbwa.
Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,
    ng’omuddo omubisi,
ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,
    ne gutugibwa nga tegunnakula.

27 (T)“ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo
    era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
    n’obuswandi bw’ondaga.
28 (U)Kubanga ondaze obuswandi bwo,
    n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
    kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
    era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’

29 (V)“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.

“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,
    ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.
Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;
    era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 (W)Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri
    kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 (X)Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
    ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.

Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.

32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,

“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 (Y)Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,
    naye taliyingira mu kibuga kino,
    bw’ayogera Mukama.
34 (Z)Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,
    ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

35 (AA)Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 (AB)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.

37 (AC)Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.

Okulwala kwa Keezeekiya

20 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”

Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, (AD)“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.

Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, (AE)“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. (AF)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

(AG)Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.

Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”

(AH)Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”

10 Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”

11 (AI)Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.

Obusirusiru bwa Keezeekiya

12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”

15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”

N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”

16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17 (AJ)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18 (AK)“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”

19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”

20 (AL)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21 Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.

Manase Kabaka wa Yuda

21 (AM)Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba. (AN)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. (AO)Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu. (AP)Yazimba n’ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.” (AQ)Era yazimbira eggye lyonna ery’omu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. (AR)N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.

(AS)Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna. (AT)Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.” (AU)Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.

10 Awo Mukama n’ayogerera mu baddu be bannabbi 11 (AV)nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye, 12 (AW)bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala. 13 (AX)Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula. 14 (AY)Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu, 15 (AZ)kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”

16 (BA)Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama. 17 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli n’ebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 18 (BB)Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.

Amoni Kabaka wa Yuda

19 Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20 (BC)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola. 21 N’atambulira mu ngeri za kitaawe, n’asinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga. 22 (BD)Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, n’atatambulira mu kkubo lya Mukama.

23 (BE)Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe. 24 (BF)Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.

25 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 26 (BG)Kabaka n’aziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya n’amusikira okuba kabaka.

Yokaana 4:1-30

Yesu n’Omukazi Omusamaliya

(A)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, (B)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (C)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (D)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (E)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (F)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (G)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (H)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (I)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (J)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (K)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (L)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (M)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (N)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (O)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (P)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (Q)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

27 (R)Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako. 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti, 29 (S)“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.