Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 25-27

Abayimbi

25 (A)Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:

Ku batabani ba Asafu:

Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.

(B)Ku batabani ba Yedusuni:

Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.

Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka:

Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.

(C)Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka. Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. (D)Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.

(E)Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

10 akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

11 akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

12 akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

13 ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

14 ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

15 ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

16 ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

17 ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

18 ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

19 ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

20 ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

21 ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

22 ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

23 ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

24 ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

25 ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

26 ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

27 ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

28 ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

29 ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

30 ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

31 (F)ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.

Ebibinja eby’abaggazi

26 (G)Ebibinja by’abaggazi byali:

Mu Bakola,

waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. (H)Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga

Zekkaliya ye w’olubereberye,

ne Yediyayeri nga wakubiri,

ne Zebadiya nga wakusatu,

ne Yasuniyeri nga wakuna,

ne Eramu nga wakutaano,

ne Yekokanani nga wamukaaga,

ne Eriwenayi nga wa musanvu.

Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga

Semaaya ye w’olubereberye,

ne Yekozabadi nga wakubiri,

ne Yowa nga wakusatu,

ne Sakali nga wakuna,

ne Nesaneeri nga wakutaano,

(I)ne Ammiyeri nga wamukaaga,

ne Isakaali nga wa musanvu,

Pewulesayi nga wa munaana,

Katonda gwe yawa omukisa.

Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.

Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.

Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.

10 (J)Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;

11 Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu,

ne Zekkaliya nga wakuna.

Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.

12 (K)Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 (L)Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.

14 (M)Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.

Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.

15 (N)Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.

16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.

17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,

ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku

ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,

ne ku ggwanika babiri babiri.

18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19 (O)Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

Abawanika n’Abakungu Abalala

20 (P)Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. 21 (Q)Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, 22 (R)batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.

23 (S)Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri:

24 (T)Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 25 (U)Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.

26 (V)Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27 Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 28 (W)Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.

29 (X)Ku Bayizukaali,

Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.

30 (Y)Ku Bakebbulooni,

Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. 31 (Z)Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe.

Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. 32 Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.

Ebibinja eby’Eggye

27 Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(AA)Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka

(AB)Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.

(AC)Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.

(AD)Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(AE)Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

(AF)Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

10 (AG)Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

11 (AH)Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

12 (AI)Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

13 (AJ)Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

14 (AK)Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

15 (AL)Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

Abataka ab’Ebika

16 Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali:

eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli;

eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;

17 (AM)eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri;

eyafuganga Alooni yali Zadooki;

18 eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi;

eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;

19 eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya;

eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;

20 eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya;

eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;

21 eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya;

eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;

22 n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu.

Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.

23 (AN)Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 24 (AO)Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.

Abalabirizi ba Kabaka

25 Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka,

ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.

26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.

27 Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu,

ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.

28 (AP)Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba;

ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.

29 Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni,

ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.

30 Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira,

ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.

31 (AQ)Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga.

Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.

32 Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi,

ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.

33 (AR)Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,

ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.

34 (AS)Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.

Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.

Yokaana 9:1-23

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. (A)Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”

(B)Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. (C)Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. (D)Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”

(E)Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. (F)N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

(G)Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 11 (H)N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”

12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”

Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa

13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 14 (I)Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 15 (J)Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”

16 (K)Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.

17 (L)Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”

Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”

18 (M)Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (N)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (O)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.