Old/New Testament
Akiya Alagula Yerobowaamu
14 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, 2 (A)Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. 3 (B)Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” 4 Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.
Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. 5 Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.
6 Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. 7 (C)Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. 8 (D)Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. 9 (E)Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.
10 (F)“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 (G)Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’
12 “Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 (H)Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.
14 “Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 (I)Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,[a] kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri. 16 (J)Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”
17 (K)Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18 Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.
19 N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20 Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Lekobowaamu Kabaka wa Yuda
21 (L)Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.
22 (M)Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 23 (N)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 (O)Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.
25 (P)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 (Q)N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.
29 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 (R)Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 (S)Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Abiyaamu Kabaka wa Yuda
15 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda. 2 (T)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.
3 (U)N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali. 4 (V)Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi. 5 (W)Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.
6 (X)Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu. 7 N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. 8 Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Asa Kabaka wa Yuda
9 Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda. 10 (Y)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.
11 Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 (Z)N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 13 (AA)Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 14 (AB)Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna. 15 (AC)N’ayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.
16 (AD)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 17 (AE)Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda. 18 (AF)Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko. 19 N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
20 (AG)Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali. 21 Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza. 22 (AH)Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.
23 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere. 24 (AI)Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Nadabu Kabaka wa Isirayiri
25 Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 (AJ)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.
27 (AK)Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28 Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.
29 (AL)Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 30 (AM)olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.
31 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 32 (AN)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.
Baasa Kabaka wa Isirayiri
33 Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34 (AO)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.
31 (A)“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 (B)naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
33 (C)Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”
34 Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”
35 (D)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 (E)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”
Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni
39 (F)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (G)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (H)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (I)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (J)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (K)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.