Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 21-22

Akabu Yeegomba Ennimiro ya Nabosi

21 (A)Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.[a] Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”

(B)Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”

(C)Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.

Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”

N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ”

(D)Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.” (E)Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi. Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti,

“Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera, 10 (F)era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”

11 Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira. 12 (G)Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu. 13 (H)Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta. 14 Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.”

15 (I)Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.” 16 Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu. 17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 18 “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. 19 (J)Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”

20 (K)Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama. 21 (L)Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. 22 (M)Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’

23 (N)“Ate era n’eri Yezeberi Mukama bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri. 24 (O)Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”

25 (P)Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi. 26 (Q)Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli[b] be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.

27 (R)Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.

28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 29 (S)“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”

Nnabbi Mikaaya Alabula Akabu

22 Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu. Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n’aserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri. (T)Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”

(U)Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?”

Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.” (V)Naye Yekosafaati n’ayongerako nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”

(W)Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ng’ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.” (X)Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa Mukama gwe tuyinza kwebuuzaako?”

(Y)Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya[c] mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.”

Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.”

10 (Z)Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali; 11 (AA)Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ”

12 Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.” 13 Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”

14 (AB)Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka Mukama ky’anaŋŋamba.” 15 Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”

16 Kabaka n’amubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya Mukama?” 17 (AC)Nnabbi n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ng’esaasaanye ku nsozi, ng’endiga ezitalina musumba.” Mukama n’ayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.”

18 Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi ky’andagulako wabula ekibi?” 19 (AD)Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono. 20 Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala. 21 Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’

22 (AE)Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’

23 (AF)“Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”

24 (AG)Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”

25 (AH)Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”

26 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka, 27 (AI)era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ”

28 (AJ)Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”

Okufa Kwa Akabu e Lamosugireyaadi

29 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 30 (AK)Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.

31 (AL)Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.” 32 Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu, 33 abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.

34 (AM)Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.” 35 Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa. 36 (AN)Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”

37 Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo. 38 (AO)Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.

39 (AP)Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira.

Yekosafaati Kabaka wa Yuda

41 Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri. 42 Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki. 43 (AQ)N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane. 44 Yekosafaati n’atabagana ne kabaka wa Isirayiri.

45 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 46 (AR)N’aggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lw’omulembe gwa kitaawe Asa. 47 (AS)Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka n’afuga.

48 (AT)Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba. 49 Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala.

50 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira.

Akaziya Kabaka wa Isirayiri

51 Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri. 52 (AU)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga. 53 (AV)Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.

Lukka 23:26-56

Yesu Akomererwa ku Musaalaba

26 (A)Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27 (B)Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28 (C)Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29 (D)Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.

30 (E)“ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,”
    n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’

31 (F)Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”

32 (G)Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (H)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35 (I)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36 (J)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (K)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”

38 (L)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,

Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.

39 (M)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (N)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”

42 (O)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”

43 (P)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

Okufa kwa Yesu

44 (Q)Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45 (R)kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46 (S)Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

47 (T)Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48 (U)Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49 (V)Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.

Okuziikibwa kwa Yesu

50 Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51 (W)teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53 Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54 (X)Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.

55 (Y)Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56 (Z)Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.