Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 4-6

Ebika Ebirala ebya Yuda

(A)Bazzukulu ba Yuda abalala baali

Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.

Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.

Ne bano, be baali baganda ba Etamu,

ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. (B)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.

Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.

(C)Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.

Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.

Keera n’amuzaalira

Zeresi, ne Izukali, ne Esumani ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

13 (D)Batabani ba Kenazi baali

Osuniyeri ne Seraya.

Batabani ba Osuniyeri baali

Kasasi ne Myonosaayi. 14 Myonosaayi n’azaala Ofula.

Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.

15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali

Iru, ne Era ne Naamu.

Ne Era n’azaala

Kenazi.

16 Batabani ba Yekalereri baali

Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.

17 (E)Batabani ba Ezula baali

Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.

Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa. 18 (F)Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.

Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.

19 (G)Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu

era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.

20 Batabani ba Simoni baali

Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.

N’ab’ennyumba ya Isi baali

Zokesi ne Benizokesi.

21 (H)Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali

Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,

22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

Ekika kya Simyoni

24 (I)Batabani ba Simyoni baali

Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.

25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.

26 Mutabani wa Misuma yali

Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.

27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 (J)Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 (K)ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 (L)ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 (M)ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 (N)Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.

34 Mesobabu, ne Yamulaki,

ne Yosa mutabani wa Amonya; 35 ne Yoweeri,

ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.

36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,

ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,

37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo. 39 (O)Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 (P)Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

41 (Q)Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 (R)Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 (S)Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

Ekika kya Lewubeeni

(T)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. (U)Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. (V)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:

Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

Ab’enda ya Yoweeri baali

Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,

ne Simeeyi muzzukulu we. Mikka yali mutabani wa Simeeyi,

ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.

(W)Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.

(X)Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano:

Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, (Y)Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.

Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. (Z)Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.

10 (AA)Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.

Ekika kya Gaadi

11 (AB)Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.

12 Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.

13 Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali

Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.

14 Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.

15 Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.

16 Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.

17 (AC)Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.

18 (AD)Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 19 (AE)Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 20 (AF)Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21 Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 22 (AG)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

Ekitundu ky’Ekika kya Manase

23 (AH)Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.

24 Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 25 (AI)Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 26 (AJ)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.

Ekika kya Leevi

(AK)Batabani ba Leevi baali

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

Batabani ba Kokasi ne baba

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

(AL)Ate abaana ba Amulaamu baali

Alooni, ne Musa ne Miryamu.

Batabani ba Alooni baali

Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.

Eriyazaali n’azaala Finekaasi,

ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;

Abisuwa n’azaala Bukki,

ate Bukki n’azaala Uzzi;

Uzzi n’azaala Zerakiya,

ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;

Merayoosi n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

(AM)Akitubu n’azaala Zadooki,

ate Zadooki n’azaala Akimaazi;

Akimaazi n’azaala Azaliya,

ne Azaliya n’azaala Yokanaani;

10 (AN)Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);

11 Azaliya n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

12 Akitubu n’azaala Zadooki,

ne Zadooki n’azaala Sallumu;

13 (AO)Sallumu n’azaala Kirukiya,

ne Kirukiya n’azaala Azaliya;

14 (AP)Azaliya n’azaala Seraya,

ne Seraya n’azaala Yekozadaki;

15 (AQ)Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.

16 (AR)Batabani ba Leevi baali

Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.

17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,

ne Libuni ne Simeeyi.

18 Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.

19 (AS)Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:

20 Abaava mu Gerusomu baali

Libuni mutabani we, ne Yakasi,

ne Zimura, 21 ne Yowa,

ne Iddo, ne Zeera,

ne Yeyaserayi.

22 (AT)Bazzukulu ba Kokasi baali

Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,

Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,

Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;

24 (AU)Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.

25 Batabani ba Erukaana baali

Amasayi ne Akimosi,

26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,

ne Nakasi, 27 (AV)ne Eriyaabu,

ne Yerokamu, ne Erukaana

ne Samwiri.

28 (AW)Batabani ba Samwiri baali

Yoweeri omuggulanda we,

n’owokubiri nga ye Abiya.

29 Bazzukulu ba Merali baali

Makuli, ne Libuni,

ne Simeeyi, ne Uzza,

30 ne Simeeyi, ne Kaggiya

ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.

31 (AX)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.

33 (AY)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:

Okuva mu Abakokasi;

Kemani, omuyimbi,

mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,

34 (AZ)muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,

muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,

35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,

muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;

36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,

muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,

37 (BA)muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,

muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,

38 (BB)muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,

muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.

39 (BC)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:

Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,

40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,

muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,

muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,

42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,

muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,

muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.

44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,

Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,

muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,

muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,

46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,

muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,

muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,

mutabani wa Leevi.

48 (BD)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Ennyumba ya Alooni

49 (BE)Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.

50 Bano be baava mu nda ya Alooni:

mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,

muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,

muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,

52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,

muzzukulu we Akitubu, 53 (BF)muzzukulu we Zadooki,

ne muzzukulu we Akimaazi.

54 (BG)Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.

55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 (BH)naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 (BI)Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 (BJ)Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 (BK)Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.

60 (BL)Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni[a] ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.

61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.

62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.

63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.

64 (BM)Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.

65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.

66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.

67 (BN)Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 (BO)ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 (BP)ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.

70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.

71 (BQ)Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.

72 (BR)Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);

74 (BS)okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 (BT)Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;

76 (BU)n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.

77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;

78 (BV)okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 (BW)Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;

80 (BX)n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 (BY)Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.

Yokaana 6:1-21

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. (A)Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. (B)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. (C)Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.

(D)Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.

Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”

(E)Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, (F)“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”

10 Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 (G)Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.

12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.

14 (H)Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15 (I)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.

Yesu Atambulira ku Mazzi

16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (J)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (K)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.