Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 13-15

Essanduuko Ekomezebwawo

13 Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi. N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko. (A)Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.” Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna.

(B)Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu. (C)Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.

(D)Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera. (E)Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.

Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko. 10 (F)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.

11 (G)Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.

12 Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?” 13 (H)Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 14 (I)Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.

14 (J)Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. (K)Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

(L)Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. (M)Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.

(N)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. (O)Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; 10 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

11 (P)Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 12 (Q)Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.

13 (R)Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. 14 Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 15 Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 16 (S)Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.

17 (T)Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

15 (U)Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. (V)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”

(W)Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.

N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi:

ku bazzukulu ba Kokasi,

Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;

ku bazzukulu ba Merali,

Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;

ku bazzukulu ba Gerusomu,

Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;

(X)ku bazzukulu ba Erizafani,

Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,

(Y)ku bazzukulu ba Kebbulooni,

Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;

10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,

Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.

11 (Z)Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, 12 (AA)n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. 13 (AB)Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri. 15 (AC)Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

16 (AD)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.

17 (AE)Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; 18 (AF)ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, 19 (AG)ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; 20 ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; 21 naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. 22 Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.

23 Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 24 (AH)Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.

25 (AI)Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. 26 (AJ)Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. 27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. 28 (AK)Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.

29 Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.

Yokaana 7:1-27

Yesu ne Baganda be

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. (B)Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. (C)Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” (D)Baganda be nabo tebaamukkiriza. (E)Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. (F)Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. (G)Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.

Yesu ku Mbaga ey’Ensiisira

10 Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu. 11 (H)Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”

12 (I)Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.” 13 (J)Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.

Yesu Ayigiriza ku Mbaga

14 (K)Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 15 (L)Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”

16 (M)Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 17 (N)Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 18 (O)Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 19 (P)Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”

20 (Q)Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 22 (R)Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 24 (S)Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”

Yesu ye Kristo

25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 (T)Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 (U)Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.