Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 6-7

Sulemaani Azimba Yeekaalu

(A)Mu mwaka ogw’ebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu[a], Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.

(B)Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu. (C)N’akola amadirisa amafunda mu kisenge kya yeekaalu. (D)Wakati w’ebisenge eby’ekisenge ekinene, n’ekifo aw’okwogerera, n’azimba obusenge obw’okubbalibbali okwetooloola wo. Ekisenge ekya wansi kyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obugazi, n’ekisenge eky’essa erya wakati kyali mita bbiri ne desimoolo musanvu, n’ekisenge eky’essa eryokusatu kyali mita ssatu ne desimoolo bbiri. N’asalako emiti okwetooloola eyeekaalu gireme okukomererwa mu bisenge bya yeekaalu.

(E)Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okw’engeri yonna okw’ennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma eky’engeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.

Omulyango ogw’ekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, n’okweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu. (F)Awo n’azimba yeekaalu n’agimala, n’agisereka n’emiti n’embaawo ez’emivule. 10 N’azimba n’ebisenge ebitono okwetooloola yeekaalu, n’obugulumivu bwa buli kimu bwali mita emu n’ekitundu, nga byesigamizibbwa ku kisenge kya yeekaalu n’emiti gy’emivule.

11 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nti, 12 (G)“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gy’ozimba; bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’ogondera ebiragiro byange, n’okwatanga n’amateeka gange gonna ng’ogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo. 13 (H)Era nnaabeeranga wamu n’abaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”

14 (I)Sulemaani n’azimba yeekaalu n’agimala. 15 (J)Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi. 16 (K)N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya. 17 Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana. 18 (L)Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa n’ebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.

19 (M)N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama. 20 (N)Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[b]. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose[c], era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule. 21 Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu. 22 Munda wa yeekaalu mwonna, n’assaamu zaabu, ne ku kyoto eky’omu kisenge awaayimirirwanga okwogera[d] n’asiigako zaabu.

23 (O)Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu. 24 Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri. 25 Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu. 26 Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya n’ekitundu. 27 (P)N’ateeka bakerubi mu kisenge eky’omunda ddala mu yeekaalu, ng’ebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, n’ekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu. 28 Bakerubi n’abasiigako zaabu.

29 (Q)Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge eby’omunda, ne mu bisenge eby’ebweru, n’akola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse. 30 Ne wansi mu bisenge eby’omunda n’eby’ebweru ebya yeekaalu n’assaamu zaabu.

31 Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano. 32 Ku nzigi zombi ez’emiti egy’emizeeyituuni n’akubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse, bakerubi n’enkindu n’abisiiga zaabu. 33 Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya. 34 N’akola n’enzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango. 35 Ku zo n’ayolako ebifaananyi ebya bakerubi, n’enkindu n’ebimuli ebyanjulukuse, n’abisiiga zaabu ensanuuse.

36 (R)N’azimba oluggya olw’omunda n’embu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu olw’emiti egy’emivule.

37 Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa. 38 (S)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli[e], gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.

Sulemaani Azimba Olubiri lwe

(T)Sulemaani kyamutwalira ebbanga lya myaka kkumi n’esatu okuzimba olubiri lwe. (U)N’azimba olubiri nga luli ng’Ekibira kya Lebanooni[f], obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, nga luwaniriddwa ku mpagi nnya ez’emivule. Ne luserekebwa n’emivule ku mikiikiro amakumi ana mu etaano, buli lunyiriri nga lulimu kkumi na ttaano. Waaliwo amadirisa agaateekebwa mu nnyiriri ssatu, buli limu nga litunuulidde linnaalyo. Buli mulyango gwalina omwango nga gwa nsonda nnya, era nga gitunuuliraganye mu nnyiriri ssatu.

N’azimba ekisenge ekinene eky’empagi obuwanvu mita amakumi abiri mu ssatu n’obugazi mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Mu maaso gaakyo waaliwo ekisasi, ekyali kiwaniriddwa empagi ez’emiti.

(V)Yazimba n’ekisenge ekinene omwali entebe ey’obwakabaka, nga kye kisenge mwe yasaliranga emisango, era nga kyonna ky’ateekebwamu emivule okuva wansi okutuuka waggulu. (W)Olubiri lwe yali agenda okubeeramu olwali emanju w’ekisenge ekinene lwali lukifaanana. N’azimbira ne muwala wa Falaawo, gwe yali awasizza, olulufaanana.

Okuva ku musingi okutuuka waggulu, ebizimbe ebyo byonna n’oluggya olunene, byazimbibwa n’amayinja agaagerebwa ne gasalibwa n’emisumeeno, mu bigera byago. 10 Omusingi gw’azimbibwa n’amayinja amanene amalungi, agamu ng’obuwanvu genkana mita nnya n’ekitundu n’amalala ng’obuwanvu genkana mita ssatu n’obutundu mukaaga. 11 Waggulu okumpi n’akasolya waaliyo amayinja ag’omuwendo omungi, agatemebwa nga bwe gaagerebwa, n’emiti egy’emivule. 12 (X)Oluggya olunene lwali lwetooloddwa bbugwe ow’embu ssatu ez’amayinja amateme, n’olubu olumu nga lwa miti egy’emivule, ng’ekisasi eky’omu maaso n’oluggya olw’omunda olwa yeekaalu bwe byali bizimbiddwa.

Ebintu bya Yeekaalu

13 (Y)Kabaka Sulemaani n’atumya Kiramu ow’e Ttuulo, eyali mutabani wa nnamwandu ow’omu kika kya Nafutaali. 14 (Z)Kitaawe yali musajja w’e Ttuulo nga muweesi wa bikomo. Kiramu yali musajja mugezi, mumanyirivu nnyo era ng’ategeera emirimu egy’ebyebikomo egya buli ngeri. N’agenda eri Kabaka Sulemaani, n’akola emirimu gyonna egya muweebwa. 15 (AA)Kiramu n’akola empagi bbiri ez’ekikomo, buli emu obuwanvu mita munaana n’akatundu kamu, n’okwetooloola buli emu mita ttaano n’obutundu buna. 16 (AB)Waggulu wa buli mpagi n’assaako ebitikkiro ebyalina ebitimba eby’omulimu ogw’ekikomo, n’emigo egy’omulimu ogw’emikuufu egyalukibwa. 17 N’akola empagi zombi n’ebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ng’erina ebiruke ng’amalanga ag’amakomamawanga, musanvu. 18 Ebitikkiro ebyali ku mpagi ez’olubalaza zakolebwa ng’amalanga ag’ebimuli eby’amakomamawanga. 19 Ebitikkiro eby’empagi byali ng’amalanga nga ziri mita emu n’obutundu munaana obugulumivu. 20 (AC)Ku buli nkufiira ey’empagi kwaliko ekifaanana ng’ebakuli okuliraana n’omulimu ogufaanana ng’ekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo. 21 (AD)N’akola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu n’agizimba ku luuyi olw’obukiikaddyo n’agituuma Yakini, n’eyokubiri n’agizimba ku luuyi olw’obukiikakkono n’agituuma Bowaazi. 22 Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli eby’amalanga, era bwe gutyo omulimu ogw’okuzimba empagi ne guggwa.

23 (AE)N’akola ttanka[g] ennene ey’ekikomo ekisaanuuse, nga neekulungirivu ng’eri mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ne mita bbiri n’obutundu busatu obugulumivu. Obwekulungirivu bwali mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 24 Wansi w’omugo gwayo kwaliko entaabwa okugyetooloola, kkumi buli butundu busatu obwa mita, era nga ziri embu bbiri, ezasaanuusibwa nayo.

25 (AF)Ettanka ennene yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, esatu nga zitunudde mu bukiikakkono, n’endala essatu nga zitunudde ebugwanjuba, n’endala essatu nga zitunudde mu bukiikaddyo, n’endala essatu nga zitunudde ebuvanjuba, era ng’ebitundu byabyo eby’emabega nga bitunuuliraganye mu masekkati gaayo. 26 Obugazi bwayo yali oluta lumu, n’omugo gwayo gwakolebwa ng’omugo gw’ekibya, ng’ekimuli ky’amalanga. Yajjulanga lita emitwalo ena mu enkumi nnya.

27 (AG)N’akola n’ebitebe ebiseetulwa, mu bikomo buli kimu obuwanvu bwakyo mita emu n’obutundu munaana, n’obugazi bwe bumu, ate obugulumivu mita emu n’obutundu busatu. 28 Ebitebe ebyo by’akolebwa bwe biti: byalina enkulukumbi mu myango gyabyo. 29 Ku nkulukumbi wakati mu myango mwalimu ebifaananyi bya bakerubi n’eby’empologoma, n’eby’ente ennume; kwaliko n’ebintu ebireebeeta ebyakolebwa n’emikono. 30 (AH)Buli kitebe ky’alina nnamuziga nnya ez’ebikomo, n’entobo za nnamuziga nga za bikomo, era nga buli kimu kirina ebensani ewaniriddwa mu nsonda nnya n’emisituliro egyasaanuusibwa, nga ku buli musituliro kuliko ebireebeeta. 31 Ekitebe ekimu kyalina akamwa akalina omwango omwekulungirivu ogwali kitundu kya mita mu kukka. Akamwa kaagwo kaali keekulungirivu n’omulimu ogwa wansi kwe kyaterezebwanga, nga gwa butundu musanvu obwa mita mu kukka. Ku kamwa kaagwo kwaliko enjola, n’enkulumbi zaakyo nga si nnekulungirivu naye ng’enjuyi zonna zenkanankana. 32 Nnamuziga ennya zaali wansi w’enkulumbi; n’emisingi gya nnamuziga gyali gikomereddwa ku kitebe. Okusala mu bukiika bwa nnamuziga emu bwali obutundu musanvu obwa mita. 33 Nnamuziga zaakolebwa nga nnamuziga ez’amagaali, era kwaliko emisingi, n’empanka, n’empagi, n’emisumaali nga byonna by’akolebwa mu kyuma ekisaanuuse.

34 Kwaliko emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli kitebe era gyonna nga gya kika kyekimu n’ekitebe. 35 Ku ntikko eya buli kitebe kwaliko engeri ey’ekikoba ekyekulungirivu; okukka kwakyo obutundu bubiri obwa mita, n’embiriizi zaakyo n’enkulukumbi ebyagiwaniriranga, byakwatagananga ku ntikko. 36 Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era n’ayolako ebimuli okwetooloola. 37 Bw’atyo bwe yakola ebitebe ekkumi. Byonna yabikola mu kyuma ekisaanuuse kyekimu, era n’abikola byonna nga bya kigero kyekimu, n’okufaanana nga bifaanana.

38 (AI)N’alyoka akola amabensani kkumi, nga ga kikomo, buli emu ng’egyamu lita lunaana mu kinaana, era buli emu nga yenkana mita emu ne desimoolo munaana obugazi, ate buli bensani ng’etuula ku kitebe kyayo. 39 N’addira ebitebe bitaano ku byo n’abiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono; n’ateeka Ennyanja ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba obwa yeekaalu. 40 N’akola n’ensuwa, n’amabensani, n’ebijiiko, n’amabensani ag’okumansira.

Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwa yeekaalu ya Mukama gwonna gwe yakolera Kabaka Sulemaani.

41 Empagi ebbiri zombi;

ebitikkiro byombi eby’ebibya ebyayolebwa waggulu ku mpagi;

embu ebbiri ez’ebitimbe ebyali ku bitikkiro byombi eby’empagi;

42 (AJ)n’ebitone ebikumi ebina eby’amakomamawanga ebyali mu mbu ebbiri, ebyali bibikka ku nkufiira ez’empagi;

43 ebitebe ekkumi n’amabensani gaakwo agaabituulangako kkumi;

44 ettanka ennene n’ebifaananyi eby’ente ennume ekkumi n’ebbiri ebyali wansi w’ettanka ennene;

45 (AK)n’ensuwa, n’ebisena, n’amabensani agamansira.

Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama byali bya bikomo bizigule. 46 (AL)Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zalesani. 47 (AM)Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obw’ekikomo ebintu mwe byakolebwa.

48 (AN)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:

ekyoto ekya zaabu;

emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;

49 (AO)ebikondo by’ettaala[h] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;

obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;

50 (AP)bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;

eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.

51 (AQ)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Lukka 20:27-47

Okuzuukira n’Okuwasa

27 (A)Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 28 (B)“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29 Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30 Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31 Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32 Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33 Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”

34 Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 35 (C)Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 36 (D)era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 37 (E)Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38 Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39 Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 40 (F)Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Kristo Mwana w’ani?

41 (G)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42 Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,

“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,
    Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 (H)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
    entebe y’ebigere byo.’

44 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (I)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.