Old/New Testament
Sawulo Agezaako Okutta Dawudi
19 (A)Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi, 2 bw’atyo n’amulabula ng’agamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bw’anaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo. 3 (B)Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”
4 (C)Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso. 5 (D)Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; Mukama n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?”
6 Sawulo n’awuliriza Yonasaani, era n’amulayirira ng’agamba nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”
7 (E)Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye. 8 Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.
9 (F)Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli. 10 (G)Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona.
11 (H)Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” 12 (I)Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
14 (J)Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.” 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”
18 (K)Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo. 19 Sawulo n’ategeezebwa nti, “Dawudi ali Nayosi mu Laama;” 20 (L)n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali. 21 Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, n’atuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo n’atuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali. 22 Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, n’atuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.” 23 (M)Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi. 24 (N)Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
Dawudi ne Yonasaani
20 (O)Awo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama n’agenda eri Yonasaani, n’amubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?” 2 Yonasaani n’addamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina ky’akola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.”
3 (P)Naye Dawudi n’amulayirira ng’ayogera nti, “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala, era alowooza mu mutima gwe nti, ‘Yonasaani tateekwa kumanya nsonga eyo, kubanga ajja kunakuwala.’ Mukama nga bw’ali omulamu, era naawe ng’oli mujulirwa, ndi wakati mu kufa.”
4 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Buli ky’oyagala nkukolere, nnaakikukolera.”
5 (Q)Dawudi n’agamba Yonasaani nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese era nsubirwa okuliira awamu ne kabaka, naye nzikiriza ŋŋende ne kweke mu nnimiro okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi nga wayiseewo ennaku bbiri. 6 (R)Kitaawo bw’anambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lw’ennyumba ye yonna.’ 7 (S)Bw’anaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bw’anaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi. 8 (T)Noolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”
9 Yonasaani n’ayogera nti, “Tekiribaawo! Singa nnali ntegedde nga kitange amaliridde okukukola akabi, sandikubuulidde?”
10 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ng’akuzzeemu n’obusungu?”
11 Yonasaani n’amugamba nti, “Jjangu tulage mu nnimiro.” Awo bombi ne balaga mu nnimiro.
12 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bw’anaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa? 13 (U)Naye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale Mukama ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. Mukama abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange. 14 Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya Mukama ekitakoma, ennaku zonna ez’obulamu bwange, nneme okuttibwa, 15 (V)tokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”
16 (W)Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.” 17 (X)Yonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.
18 (Y)Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere. 19 (Z)Okwosa enkya, obudde nga bunaatera okuziba, genda mu kifo mwe weekweka luli, ebizibu bino bwe byatandika, obeere awali ejjinja Ezeri. 20 Nnaalasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, ng’ateeba ssabbaawa. 21 N’oluvannyuma nzija kutuma omulenzi nga mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe naamugamba nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi gy’oli, buleete,’ kale onojja, kubanga Mukama nga bw’ali omulamu, onoolama, era tewaabeewo kabi. 22 (AA)Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo Mukama ng’akugambye ogende. 23 (AB)Era ne ku bigambo bye twayogerako, Mukama abeere naffe ennaku zonna.”
24 Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka n’atuula okulya. 25 (AC)N’atuula mu kifo kye ekya bulijjo okumpi n’ekisenge okwolekera Yonasaani. Abuneeri n’atuula okuliraana Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere. 26 (AD)Sawulo n’atabaako kyayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti, “Waliwo ekituuse ku Dawudi ne kimufuula atali mulongoofu; ddala si mulongoofu.” 27 Olunaku olwaddirira, omwezi nga gumaze okuboneka, ekifo kya Dawudi ne kisigala nga kyereere. Awo Sawulo n’abuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekyalobedde mutabani wa Yese okujja ku kijjulo, olunaku lwa jjo newaakubadde leero?”
28 (AE)Yonasaani n’addamu nti, “Dawudi yanneegayiridde mukkirize agende e Besirekemu, 29 ng’ayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka ey’okuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.”
30 Awo Sawulo n’annyiigira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti, “Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi? 31 Mutabani wa Yese ng’akyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”
32 (AF)Awo Yonasaani n’addamu kitaawe Sawulo nti, “Kiki ekimugwanyiza okuttibwa? Akoze ki?” 33 (AG)Naye Sawulo n’amukasuukirira effumu amutte. Awo Yonasaani we yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi.
34 Yonasaani n’asituka ku mmeeza mu busungu obungi, era n’atalya mmere ku lunaku olwokubiri olw’omwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe eky’obuswavu eri Dawudi.
35 Ku makya Yonasaani n’alaga mu nnimiro okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. Yalina akalenzi ke yagenda nako, 36 n’akagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani n’alasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo. 37 (AH)Awo akalenzi bwe kaatuuka mu kifo akasaale we kaali kagudde, Yonasaani n’akakoowoola ng’agamba nti, “Akasaale tekali mu maasoko?” 38 N’akangula ku ddoboozi, n’amugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako. 39 Naye akalenzi ne katabaako kye kategeera. Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya enteekateeka eyo. 40 Awo Yonasaani n’akwasa akalenzi ebyokulwanyisa bye, n’akagamba nti, “Genda, obizzeeyo mu kibuga.” 41 Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.
42 (AI)Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.
Dawudi ng’ali e Nobu
21 (AJ)Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?” 2 Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana. 3 Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”
4 (AK)Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.” 5 (AL)Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?” 6 (AM)Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.
7 (AN)Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa. 8 Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.” 9 (AO)Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.”
Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”
Dawudi Addukira e Gaasi
10 (AP)Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi. 11 (AQ)Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti,
“ ‘Sawulo asse enkumi ze
ne Dawudi emitwalo gye?’ ”
12 Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi. 13 (AR)Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.
14 Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde? 15 Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”
Akabonero ka Yona
29 (A)Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30 Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 31 (B)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 32 (C)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Ettaala y’Omubiri
33 (D)“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba. 34 Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35 Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe. 36 Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
37 (E)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya. 38 (F)Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
39 (G)Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu. 40 (H)Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda? 41 (I)Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
42 (J)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
43 (K)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
44 (L)“Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”
45 (M)Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”
46 (N)Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
47 “Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta. 48 (O)Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo. 49 (P)Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’ 50 Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 51 (Q)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
52 (R)“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (S)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.