Old/New Testament
3 (A)Awo ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi okumala ebbanga ddene. Dawudi n’akulaakulana, n’aba w’amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongeranga okunafuwa.
2 (B)Dawudi n’azaalirwa abaana aboobulenzi e Kebbulooni.
Omuggulanda yali Amunoni eyazaalibwa Akinoamu Omuyezuleeri,
3 (C)owookubiri yali Kireyaabu eyazaalibwa Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri,
n’owookusatu yali Abusaalomu eyazaalibwa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli[a];
4 (D)n’owookuna yali Adoniya eyazaalibwa Kaggisi,
n’owokutaano yali Sefatiya eyazaalibwa Abitali;
5 n’ow’omukaaga yali Isuleyamu, eyazaalibwa Egula mukyala wa Dawudi.
Abo be baazaalirwa Dawudi mu Kebbulooni.
Abuneeri Asala Eddiiro
6 Entalo n’enkaayana nga zikyagenda mu maaso wakati w’ennyumba ya Sawulo n’ennyumba ya Dawudi, Abuneeri n’anyweza ekifo kye mu nnyumba ya Sawulo. 7 (E)Sawulo yalina omuzaana erinnya lye Lizupa muwala wa Aya. Isubosesi n’abuuza Abuneeri nti, “Lwaki weetaba n’omuzaana wa kitange?”
8 (F)Awo Abuneeri n’asunguwala nnyo olw’ekigambo Isubosesi kye yamugamba, n’amuddamu nti, “Nze mutwe gw’embwa ya Yuda? Mbadde wa kisa eri ennyumba ya kitaawo Sawulo, n’eri baganda be, ne mikwano gye, ne sibawaayo mu mukono gwa Dawudi. Kaakano onteekako omusango olw’omukazi oyo. 9 (G)Katonda akole Abuneeri bw’atyo n’okukirawo, bwe siituukirize ekyo Mukama kye yalayirira Dawudi, 10 (H)okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n’okunyweza entebe ey’obwakabaka eya Dawudi okufuga Isirayiri ne Yuda okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba[b].” 11 Isubosesi n’ataŋŋaanga kwanukula Abuneeri kigambo kirala, olw’okumutya.
12 Awo Abuneeri n’atumira Dawudi ababaka okumugamba nti, “Ensi y’ani? Kola endagaano nange, laba nnaafuula Isirayiri yonna okuba eyiyo.” 13 (I)Dawudi n’ayogera nti, “Kirungi. Nzija okukola endagaano naawe. Naye ekintu kimu kye nkusaba. Tojja mu maaso gange okuggyako ng’ojja ne Mikali muwala wa Sawulo, ng’ojja okundaba.” 14 (J)Awo Dawudi n’atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng’agamba nti, “Mpa mukyala wange Mikali gwe nayogereza n’ebikuta ekikumi eby’Abafirisuuti.”
15 (K)Amangwago Isubosesi n’alagira, bamuggye ku bba Palutiyeri mutabani wa Layisi. 16 (L)Naye bba we n’abagoberera, nga bw’akaaba okutuukira ddala, e Bakulimu. Abuneeri n’amugamba nti, “Ddayo eka. N’addayo.”
17 (M)Abuneeri n’ateesa n’abakadde ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Mumaze ebbanga nga mwagala okufuula Dawudi kabaka wammwe. 18 (N)Kaakano mukituukirize, kubanga Mukama yasuubiza Dawudi nti, ‘Ndirokola abantu bange Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna, nga nkozesa omuddu wange Dawudi.’ ”
19 (O)Abuneeri n’agenda n’eri Ababenyamini n’ayogera nabo, n’oluvannyuma n’agenda n’ategeeza Dawudi e Kebbulooni, ebyo byonna Isirayiri n’ennyumba ya Benyamini bye baasalawo okukola. 20 Awo Abuneeri n’agenda n’abasajja amakumi abiri ewa Dawudi e Kebbulooni, Dawudi n’abategekera embaga nnene. 21 (P)Abuneeri n’agamba Dawudi nti, “Ka ŋŋenderewo mukama wange Kabaka, nkuŋŋaanye Isirayiri yenna, bakole endagaano naawe, obafuge ng’omutima gwo bwe gunaasiima.” Awo Dawudi n’asindika Abuneeri agende, n’agenda mirembe.
Yowaabu Atta Abuneeri
22 Awo abasajja ba Dawudi ne bakomawo ne Yowaabu, nga baleese omunyago munene ddala. Naye we baakomerawo nga Abuneeri takyali ne Dawudi e Kebbulooni, kubanga yali amusiibudde agende mirembe. 23 Yowaabu n’eggye lyonna bwe baatuuka, Yowaabu n’ategeezebwa nga Abuneeri mutabani wa Neeri bwe yazze eri kabaka, naye kabaka n’amusiibula, n’agenda mirembe.
24 Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Wakoze ki ekyo, okuleka Abuneeri n’agenda? 25 Okimanyi nga Abuneeri mutabani wa Neeri, yazze okukubuzaabuza, n’okuketta ennyingira yo n’enfuluma yo, ne byonna by’okola?”
26 Yowaabu n’ava mu maaso ga Dawudi, n’atuma ababaka okugoberera Abuneeri, era ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira, naye Dawudi n’atakimanya. 27 (Q)Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n’amutwala ku bbali w’omulyango, ne yeefuula ng’ayogera naye mu kyama, n’amufumita mu lubuto n’afa. Ekyo Yowaabu y’akikola okumusasula olw’omusaayi gwa Asakeri muganda we.
28 (R)Oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira, n’ayogera nti, “Nze n’obwakabaka bwange tetulivunaanibwa ennaku zonna mu maaso ga Mukama olw’omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri. 29 (S)Omusaayi gwe gubeerenga ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba ya kitaawe, era mu nnyumba ya Yowaabu mulemenga okubulamu omuziku newaakubadde omugenge, newaakubadde omulema newaakubadde alifa n’ekitala, newaakubadde alibulwa emmere.”
30 Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne batta Abuneeri kubanga yatta muganda waabwe Asakeri mu lutalo e Gibyoni. 31 (T)Awo Dawudi n’agamba Yowaabu n’abantu bonna abaali naye nti, “Mwambale ebibukutu, mukungubagire mu maaso ga Abuneeri.” Kabaka Dawudi yennyini n’atambulira emabega w’essanduuko omwali omulambo. 32 (U)Abuneeri n’aziikibwa e Kebbulooni, kabaka n’akaaba n’eddoboozi ddene awamu n’abantu bonna ku ntaana ya Abuneeri.
33 (V)Kabaka n’akungubagira Abuneeri, ng’agamba nti,
“Abuneeri teyandifudde ng’omusirusiru bw’afa.
34 Emikono gyo tegyasibibwa, so
n’ebigere byo tebyateekebwa mu masamba.
Ng’omuntu bw’agwa mu maaso g’abo abatali batuukirivu, bwe wagwa bw’otyo.”
Abantu bonna ne bamukungubagira.
35 (W)Oluvannyuma bonna ne bagezaako okuwaliriza Dawudi alye ku mmere ng’obudde bukyalaba, naye n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kintu kyonna, okutuusa enjuba ng’emaze okugwa.”
36 Awo abantu bonna ne bakitegeera era ne kibasanyusa. Byonna kabaka bye yakolanga ne bisiimibwanga abantu. 37 (X)Era ku lunaku olwo abantu bonna ne Isirayiri yenna ne bategeera nga kabaka teyasiima kuttibwa kwa Abuneeri mutabani wa Neeri.
38 (Y)Awo kabaka n’agamba abantu be nti, “Temumanyi nga leero mu Isirayiri mufuddemu omukungu era omusajja omuzira? 39 (Z)Era leero, newaakubadde nga nze kabaka eyafukibwako amafuta, ndimunafu olw’abaana ba Zeruyiya abampitiriddeko obukakanyavu. Mukama asasule bw’atyo omukozi w’ebibi olw’ebikolwa bye!”
Isubosesi Attibwa
4 (AA)Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira. 2 (AB)Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini, 3 (AC)engeri abantu ab’e Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.
4 (AD)Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.
5 (AE)Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ez’etuntu, ne bamusanga ng’awummuddeko. 6 (AF)Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.
7 Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako n’omutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba. 8 (AG)Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”
9 (AH)Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna, 10 (AI)omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta. 11 (AJ)Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”
12 (AK)Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.
Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri
5 (AL)Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. 2 (AM)Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” 3 (AN)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[c].
4 (AO)Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. 5 (AP)Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
Dawudi Awamba Yerusaalemi
6 (AQ)Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. 7 (AR)Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
8 Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” 9 (AS)Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 10 (AT)Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.
11 (AU)Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12 Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
13 (AV)Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa. 14 (AW)Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 15 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya, 16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.
Dawudi Awangula Abafirisuuti
17 (AX)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 18 (AY)Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 19 (AZ)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
20 (BA)Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 21 (BB)Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.
22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 24 (BC)Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 25 (BD)Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
25 Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti, 26 (A)“Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. 27 (B)Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
28 “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza? 29 Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera, 30 nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’
31 “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri? 32 Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe. 33 (C)Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
34 (D)“Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo? 35 (E)Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.