Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 17-18

Dawudi ne Goliyaasi

17 (A)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka. (B)Sawulo n’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olw’olusozi, n’Abayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olw’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.

(C)Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi[a], ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo. Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu. (D)Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo. (E)N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.

(F)Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.” 10 (G)Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.” 11 Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.

12 (H)Dawudi yali mutabani wa Yese Omwefulasi ow’e Besirekemu mu Yuda. 13 (I)Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo.

Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma. 14 Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo, 15 (J)naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo.

16 Omufirisuuti n’amala ennaku amakumi ana ng’asoomooza Abayisirayiri enkya n’akawungeezi. 17 (K)Yese n’agamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ez’eŋŋaano ensiike n’emigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe. 18 (L)Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi[b]) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya. 19 Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.”

20 Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo. 21 Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo. 22 Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be. 23 (M)Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira. 24 Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okw’ekitalo. 25 (N)Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”

26 (O)Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?” 27 Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.”

28 (P)Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”

29 Dawudi n’ayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.” 30 N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose. 31 Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya.

32 (Q)Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 33 (R)Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”

34 (S)Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 37 (T)Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”

Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.

41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 42 (U)Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 43 (V)N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 44 (W)Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”

45 (X)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 (Y)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 (Z)Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”

48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. 50 (AA)Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.

51 (AB)Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo.

Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka. 52 (AC)Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni. 53 Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lw’Abafirisuuti. 54 Dawudi n’asitula omutwe gw’Omufirisuuti n’aguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye.

55 (AD)Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.” 56 Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.” 57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 58 (AE)Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”

Omukwano gwa Yonasaani ne Dawudi

18 (AF)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala. Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe. (AG)Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka. (AH)Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.

Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.

Sawulo Akwatirwa Dawudi Obuggya

(AI)Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli. (AJ)Baazinanga ate nga bwe bayimba nti,

“Sawulo asse enkumi ze
    Dawudi n’atta emitwalo gye.”

(AK)Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?” Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya.

10 (AL)Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze, 11 (AM)n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.

12 (AN)Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo. 13 (AO)Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu. 14 (AP)Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye. 15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya. 16 (AQ)Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.

17 (AR)Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.” 18 (AS)Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?” 19 (AT)Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.

20 (AU)Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira. 21 (AV)Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”

22 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’ ” 23 Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.” 24 Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi. 25 (AW)Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’ ” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.

26 Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo, 27 (AX)Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase.

28 Naye Sawulo bwe yategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi, 29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.

30 (AY)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.

Lukka 11:1-28

Yesu Ayigiriza Okusaba

11 (A)Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”

(B)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,

“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.
Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
(C)Era otusonyiwe ebyonoono byaffe,
    nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo.
So totutwala mu kukemebwa.’ ”

Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”

“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ (D)Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.

(E)“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10 Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.

11 “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12 Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13 Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

Yesu ne Beeruzebuli

14 (F)Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya. 15 (G)Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!” 16 (H)Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.

17 (I)Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika. 18 (J)Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli. 19 Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango. 20 (K)Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

21 “Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye. 22 Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.

23 (L)“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.

24 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’ 25 Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke. 26 (M)Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”

27 (N)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”

28 (O)Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.