Old/New Testament
Dawudi Asenga mu Bafirisuuti
27 Dawudi n’afumiitiriza mu mutima gwe ng’agamba nti, “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi y’Abafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.”
2 (A)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki ow’e Gaasi. 3 (B)Dawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali. 4 Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi n’alekeraawo okumunoonya.
5 Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?”
6 (C)Awo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero. 7 (D)Dawudi n’abeera mu nsi ey’Abafirisuuti okumala omwaka gumu n’emyezi ena. 8 (E)Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri. 9 (F)Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi.
10 (G)Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri[a],” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni[b].” 11 Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti. 12 Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”
Sawulo n’Omulabi w’e Endoli
28 (H)Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.” 2 Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.”
3 (I)Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi.
4 (J)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu, ate Sawulo ye n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna ne basiisira e Girubowa. 5 Awo Sawulo bwe yalaba eggye ery’Abafirisuuti, n’atya, emmeeme n’emutyemuka. 6 (K)Ne yeebuuza ku Mukama, naye Mukama n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi. 7 (L)Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.”
Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.”
8 (M)Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.”
9 (N)Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?”
10 Sawulo n’amulayirira eri Mukama ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”
11 Awo omukazi n’amubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” N’addamu nti, “Nyimusiza Samwiri.”
12 Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”
13 Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.” 14 (O)Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.
15 (P)Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?”
Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”
16 Samwiri n’amubuuza nti, “Ombuuliza ki, Mukama ng’amaze okukuvaako n’okufuuka omulabe wo? 17 (Q)Mukama atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi. 18 (R)Kubanga tewagondera Mukama newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, Mukama kyavudde akukola kino leero. 19 (S)Mukama alikuwaayo gwe n’Abayisirayiri eri Abafirisuuti, era enkya ggwe ne batabani bo munaaba nange eno gye ndi. Era Mukama anaawaayo eggye lya Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.”
20 Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo.
21 (T)Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye. 22 Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.”
23 (U)N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.”
Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda.
24 Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse. 25 N’alyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. N’oluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira.
Abafirisuuti Bagaana Dawudi Okubeegattako mu Lutalo
29 (V)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna e Afeki, n’Abayisirayiri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. 2 (W)Abakulembeze b’Abafirisuuti bwe baali nga bakumba n’ebibinja byabwe eby’ebikumi n’eby’enkumi, Dawudi n’abasajja be ne babagoberera nga babavaako emabega wamu ne Akisi. 3 (X)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?”
Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.” 4 (Y)Naye abaduumizi b’Abafirisuuti ne bamunyiigira ne bamugamba nti, “Sindika omusajja oyo addeyo mu kifo kye wamuwa. Tasaanye kugenda naffe mu lutalo, si kulwa nga atwefuukira wakati mu lutalo. Olowooza waliwo ekkubo eddala erisinga lino okumusobozesa okufuna okuganja eri mukama we bw’amutwalira emitwe gy’abasajja baffe? 5 (Z)Oyo si ye Dawudi gwe baayimbangako, nga bazina, nga boogera nti,
“ ‘Sawulo asse enkumi ze,
ne Dawudi asse emitwalo gye?’ ”
6 (AA)Awo Akisi n’ayita Dawudi n’amugamba nti, “Amazima ddala nga Mukama bw’ali omulamu, obadde mwesimbu era eyeesigibwa, era nandyagadde oweerereze wamu nange mu magye. Okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi n’okutuusa leero sirabanga bukyamu mu ggwe, naye abakulu tebakusiimye. 7 Noolwekyo ddayo kaakano, ogende mirembe oleme okwemulugunyizisa abafuzi b’Abafirisuuti.”
8 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Naye nkoze ki? Nsonga ki gy’olabye etali nnungi mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe natandika okukuweereza n’okutuusa leero? Kiki ekindobera okugenda okulwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”
9 (AB)Akisi n’amuddamu nti, “Mmanyi nga tolina nsonga n’emu mu maaso gange nga malayika wa Katonda, naye abaduumizi b’Abafirisuuti bagambye nti, ‘Tosaana kugenda naffe mu lutalo.’ 10 (AC)Kaakano obudde bwe bunaakya onoogolokoka ggwe wamu n’abasajja ba mukama wo, be wazze nabo, mugende ku makya obudde nga bwakalaba.”
11 Awo Dawudi ne basajja be ne bagolokoka ku makya nnyo ne baddayo mu nsi ey’Abafirisuuti, Abafirisuuti bo ne bambuka e Yezuleeri.
Kwenenya oba Kuzikirira
13 (A)Mu kiseera ekyo ne wabaawo abategeeza Yesu nga Piraato bwe yatta Abagaliraaya, omusaayi gwabwe n’agutabula mu biweebwayo byabwe. 2 (B)Yesu n’abagamba nti, “Mulowooza nti Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna, balyoke baboneebone batyo? 3 Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ng’abo bwe baazikirira. 4 (C)Ate bali ekkumi n’omunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna? 5 (D)Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”
Olugero lw’Omutiini Ogutabala
6 (E)Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyasimba omutiini mu nnimiro ye. N’agendangayo okugulambula okulaba obanga gubazeeko ebibala, n’asanga nga tegubazeeko kibala na kimu. 7 (F)Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’ 8 Omulimi we n’addamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko n’ebigimusa. 9 Bwe gulibala ebibala gye bujja, kiriba kirungi! Naye bwe gutalibala, olwo noolyoka ogutemawo.’ ”
Yesu Awonya Omukazi Omulema ku Ssabbiiti
10 (G)Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, 11 (H)ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. 12 Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” 13 (I)N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
14 (J)Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
15 (K)Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi? 16 (L)Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
17 (M)Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali
18 (N)Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki? 19 (O)Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
20 Ate era n’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki? 21 (P)Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Omulyango Omufunda
22 (Q)Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.