Old/New Testament
Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo
1 (A)Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. 2 (B)Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
3 Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” 4 Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” 5 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
6 (C)Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. 7 Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
8 (D)“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’
“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
9 “N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
10 (E)“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
11 (F)Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13 (G)Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14 (H)Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 15 (I)Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16 (J)Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani
17 (K)Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 (L)n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
19 (M)“Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!
Ab’amaanyi nga bagudde!
20 (N)“Temukyogeranga mu Gaasi,[a]
temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,[b]
abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.
21 (O)“Mmwe ensozi za Girubowa,
muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,
newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.
Kubanga eyo engabo[c] ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa
n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 (P)Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega
n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,
olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,
n’amasavu g’ab’amaanyi.
23 (Q)“Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,
ne mu kufa tebaayawukana.
Baali bangu okusinga empungu,
era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,
mukaabire Sawulo,
eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,
eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.
25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 (R)Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,
kubanga wali mukwano gwange ddala.
Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,
nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
27 (S)“Ab’amaanyi nga bagudde,
n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”
Dawudi Afukibwako Amafuta Okuba Kabaka wa Yuda
2 (T)Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?”
Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.”
N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?”
Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.”
2 (U)Awo Dawudi n’agenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali ow’e Kalumeeri. 3 (V)Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo. 4 (W)Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda.
Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo, 5 (X)n’abatumira ababaka okubagamba nti, “Mukama abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika. 6 (Y)Mukama abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze. 7 Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”
Olutalo Olwabaawo Wakati w’Ennyumba ya Dawudi n’Ennyumba ya Sawulo
8 (Z)Mu biro ebyo, Abuneeri[d] mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu. 9 (AA)N’amufuula kabaka w’e Gireyaadi, ow’Abasuuli[e], ow’e Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna.
10 Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi. 11 (AB)Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
12 (AC)Abuneeri mutabani wa Neeri n’abasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. 13 (AD)Yowaabu[f] mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.
14 Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.” 15 Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi. 16 Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu.
17 (AE)Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri n’abasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi. 18 (AF)Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale. 19 Asakeri n’agoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono. 20 Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, n’abuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?”
N’addamu nti, “Ye nze.”
21 Abuneeri n’amugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri n’atalekaayo kumugoba. 22 (AG)Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”
23 (AH)Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo.
24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni. 25 Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.
26 (AI)Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”
27 Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.” 28 (AJ)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere[g], abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa.
29 (AK)Ekiro ekyo kyonna Abuneeri n’abasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera eky’oku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu.
30 Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri. 31 Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri. 32 (AL)Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. N’oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.
Yesu Awonya Omulwadde w’Entumbi ku Ssabbiiti
14 (A)Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. 2 Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. 3 (B)Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” 4 Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.
5 (C)N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?” 6 Era ne batamuddamu.
Okwetoowaza ku Bugenyi
7 (D)Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti, 8 “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, 9 eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. 10 Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. 11 (E)Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 (F)Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 (G)Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”
15 (H)Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
16 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. 17 Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’
18 “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
19 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
20 “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’
21 (I)“Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
22 “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
23 “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. 24 (J)Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.