Old/New Testament
Dawudi, Nabali ne Abbigayiri
25 (A)Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama.
Awo Dawudi n’avaayo n’aserengeta mu ddungu Palani. 2 (B)Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina eby’obugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu n’embuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya eby’endiga ze, e Kalumeeri. 3 (C)Erinnya ly’omusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bw’omutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye.
4 Nabali yali ng’asala ebyoya by’endiga ze, Dawudi n’akiwulira. 5 Dawudi n’atuma abavubuka kkumi, n’abagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange. 6 (D)Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe n’ennyumba yo, ne ku bintu byo byonna.
7 (E)“Mpulira nti ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era n’ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula. 8 (F)Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera eky’okukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna ky’olinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.”
9 Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira. 10 (G)Nabali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe. 11 (H)Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?”
12 Awo abasajja ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo ne bamutegeeza buli kigambo nga bwe bategeezebbwa. 13 (I)Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa.
14 (J)Omu ku baddu ba Nabali n’agamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ng’ali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye n’abavuma; 15 (K)ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu n’ekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo. 16 (L)Baaberanga ng’ekisenge okutwetooloola emisana n’ekiro, ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. 17 (M)Kaakano kifumiitirizeeko, olabe ky’oyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe n’ennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.”
18 (N)Awo amangwago Abbigayiri n’ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri, n’ebita bibiri ebya wayini, n’ennyama ey’endiga ttaano ennongoose obulungi, n’ebigero bitaano eby’eŋŋaano ensiike, n’ebitole kikumi eby’ezabbibu enkalu, n’ebitole ebikumi bibiri eby’ettiini, n’abiteeka ku ndogoyi. 19 (O)N’agamba abaweereza be nti, “Munkulemberemu, nange nzija.” Naye n’atabuulirako bba Nabali.
20 Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, n’ayita kumpi n’olusozi nga lumukweka. N’asisinkana Dawudi n’abasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera. 21 (P)Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bw’atyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi. 22 (Q)Kale Katonda akole bw’atyo abalabe ba Dawudi n’okukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we n’omu anaasigala nga mulamu.”
23 (R)Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, n’ayanguwa okuva ku ndogoyi ye, n’avuunama mu maaso ga Dawudi. 24 N’agwa ku bigere bye n’ayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo ky’anaayogera. 25 (S)Mukama wange aleme okussa omwoyo ku musajja omusirusiru oyo Nabali, kubanga n’erinnya lye litegeeza musirusiru, atambulira mu busirusiru bwe. Naye nze omuweereza wo, ssaalabye bavubuka mukama wange be watumye.
26 (T)“Kale nno mukama wange, nga Mukama bw’ali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga n’omukono gwo, era naawe bw’oli omulamu, abalabe bo, n’abo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali. 27 (U)Era n’ekirabo kino omuweereza wo ky’aleetedde mukama wange kiweebwe abavubuka abatambula ne mukama wange. 28 (V)Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo. 29 (W)Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga Mukama Katonda wo mu lulyo olw’abalamu. Naye obulamu bw’abalabe bo alibuvuumuula ng’ejjinja bwe liva mu nvuumuulo. 30 (X)Awo Mukama bw’alikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era n’amufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri, 31 (Y)mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era Mukama bw’alikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.”
32 (Z)Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero. 33 (AA)Akuwe omukisa oyo akubedde okusalawo obulungi, era akubedde okundabula obutayiwa musaayi leero n’obuteewalanira ggwanga. 34 Kubanga mazima ddala nga Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja n’omu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.”
35 (AB)Awo Dawudi n’akkiriza okutwala Abbigayiri bye yaleeta, n’ayogera nti, “Genda ewuwo mirembe. Mpulidde ebigambo byo, era nzikkirizza okwegayirira kwo.”
36 (AC)Awo Abbigayiri bwe yaddayo eri Nabali, n’amusanga ng’ali mu nnyumba, era ng’akoze embaga, ng’eya kabaka. Yali asanyuukiridde nnyo, era ng’atamidde, kyeyava tamunyega ku olwo, okutuusa enkeera. 37 Awo bwe bwakya, Nabali omwenge nga gumuweddeko, mukyala we n’amutegeeza ebigambo ebyo byonna, naye omutima gwe ne gukakanyala, ne guba ng’ejjinja. 38 (AD)Oluvannyuma lw’ennaku nga kkumi, Nabali n’afa ekikutuko.
39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng’afudde, n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe anwaniridde, Nabali olw’obubi bwe yankola. Mukama ambedde, era akuumye omuweereza we obutakola kikyamu, n’ateeka ebikolwa bya Nabali ebibi ku mutwe ggwe.”
Awo Dawudi n’atumira Abbigayiri, n’amusaba afuuke mukazi we ng’amusaba okumuwasa. 40 Abaweereza ba Dawudi ne bagenda e Kalumeeri ne bagamba Abbigayiri nti, “Dawudi atutumye tukutwale omufumbirwe.”
41 N’avuunama amaaso ge n’ayogera nti, “Laba omuweereza wo mweteefuteefu okunaazanga ebigere by’abaweereza ba mukama wange.” 42 (AE)Awo Abbigayiri n’ayanguwa okwebagala endogoyi, ng’awerekeddwako abaweereza bataano, n’agenda n’ababaka ba Dawudi, n’amufumbirwa. 43 (AF)Dawudi yali awasizza ne Akinoamu[a] ow’e Yezuleeri, era bombi ne baba bakyala be. 44 (AG)Kyokka Sawulo yali agabidde muwala we Mikali, eyali mukyala wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow’e Galimu.
Dawudi Agaana Omulundi Ogwokubiri Okutta Sawulo
26 (AH)Awo ab’e Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olw’ebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?”
2 (AI)Awo Sawulo n’abasajja abolondemu enkumi ssatu aba Isirayiri, ne bagolokoka ne baserengeta mu ddungu ery’e Zifu, okunoonya Dawudi. 3 Sawulo n’asiisira ku mabbali g’ekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi n’asigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ng’amugoberedde mu ddungu, 4 n’atuma abakessi okukakasiza ddala obanga Sawulo yali atuuse.
5 (AJ)Dawudi n’agolokoka n’agenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N’alaba Sawulo ne Abuneeri mutabani wa Neeri omuduumizi w’eggye, we baali beebase. Sawulo yali yeebase wakati mu lusiisira, ng’eggye limwetoolodde.
6 (AK)Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya[b] nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”
7 Awo Dawudi ne Abisaayi ne bagenda mu lusiisira ekiro, ne basanga Sawulo nga yeebase wakati mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka emitwetwe we. Abuneeri n’abaserikale baali beebase okumwetooloola.
8 Abisaayi n’agamba Dawudi nti, “Leero, Katonda awaddeyo omulabe wo mu mukono gwo. Kale nno mpa olukusa mmufumitire wansi awo n’effumu. Siimufumite gwakubiri.”
9 (AL)Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango? 10 (AM)Mukama nga bw’ali omulamu, Mukama yennyini yali mukuba. Luliba lumu, olunaku lwe lulituuka n’afa, oba aligenda mu lutalo n’azikiririra eyo. 11 Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta. Naye ddira effumu n’eccupa ey’amazzi ebiri emitwetwe we obisitule tugende.”
12 (AN)Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’eccupa ey’amazzi ebyali emitwetwe wa Sawulo ne bagenda. Tewali yabalaba newaakubadde okukitegeera, wadde okusisimuka, kubanga bonna Mukama yali abeebasiza otulo tungi nnyo.
13 N’oluvannyuma Dawudi n’asomoka n’agenda emitala, n’ayimirira walako ku ntikko ey’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekibangirizi kinene. 14 N’akoowoola eggye ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng’ayogera nti, “Tonziremu gwe Abuneeri?” Abuneeri n’addamu nti, “Ggwe ani alangiriza kabaka?”
15 Awo Dawudi n’agamba Abuneeri nti, “Oli musajja muzira, si bwe kiri? Ani akwenkana mu Isirayiri? Kiki ekyakulobedde okukuuma obulungi mukama wo kabaka? Kubanga waabaddewo omuntu eyazze okuzikiriza mukama wo kabaka. 16 Ekyo kye wakoze si kirungi. Nga Mukama bw’ali omulamu, ggwe n’abasajja bo musaana kufa, olw’obulagajjavu bwammwe, kubanga temwakuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Mutunule mwetegereze; effumu lya kabaka n’eccupa ey’amazzi ebyabadde emitwetwe wa kabaka biri ludda wa?”
17 (AO)Sawulo n’ategeera nga ddoboozi lya Dawudi, n’abuuza nti, “Ye ggwe mutabani wange Dawudi?” Dawudi n’addamu nti, “Ye nze mukama wange kabaka.” 18 (AP)Dawudi n’amubuuza nti, “Lwaki oyigganya omuweereza wo? Nakola ki, era musango ki gwe nazza? 19 (AQ)Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’ 20 (AR)Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiyibwa wansi ewala Mukama gy’atabeera. Kabaka wa Isirayiri avuddeyo okunoonya enkukunyi, ng’omuntu bwe yandiyizze enkwale mu nsozi.”
21 (AS)Awo Sawulo n’ayogera nti, “Nnyonoonye. Komawo mutabani wange Dawudi. Sigenda kuddamu kugezaako kukukolako kabi n’akamu, kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.”
22 Dawudi n’addamu nti, “Effumu lya kabaka liirino. Tuma omu ku bavubuka bo ajje aliddukire. 23 (AT)Mukama asasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe, bwe biri. Mukama yakuwaddeyo mu mukono gwange leero, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta. 24 (AU)Nga bwe mbaliridde obulamu bwo okuba obw’omuwendo leero, kale obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, era andokole mu bizibu byonna.”
25 Awo Sawulo n’addamu nti, “Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.”
Awo Dawudi n’agenda amakubo ge, ne Sawulo ne yeddirayo ewuwe.
32 (A)“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka. 33 (B)Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. 34 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.
35 “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36 Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37 (D)Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38 Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.
39 (E)“Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira. 40 (F)Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
41 Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”
42 (G)Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? 43 Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. 44 Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. 45 Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, 46 (H)mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47 (I)“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. 48 (J)Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
49 “Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde! 50 (K)Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa! 51 Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52 Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53 (L)Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”
Okunnyonnyola Ebiriwo
54 (M)Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya. 55 Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. 56 (N)Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?
57 “Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu? 58 (O)Bw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera. 59 (P)Kubanga nkutegeeza nti togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.