Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 15-16

Amateeka ku Biweebwayo

15 Mukama Katonda n’agamba Musa (A)ayogere n’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe, (B)ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama; (C)kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi, nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini[a] ey’amafuta ag’omuzeeyituuni. (D)Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa.

(E)“Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini, era n’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini obw’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa, eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

(F)“Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento ey’ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda, (G)ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eweza gulaamu mukaaga n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni agaweza kilo emu n’ekitundu. 10 Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 11 Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo. 12 Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi.

13 (H)“Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 14 Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola. 15 (I)Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga n’amateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era n’abagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka ery’enkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli n’omugwira bw’atyo bw’anaabanga mu maaso ga Mukama Katonda. 16 (J)Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”

17 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 18 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala, 19 (K)ne mulya ku mmere y’omu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri Mukama. 20 (L)Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro. 21 (M)Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’ 

Ebiweebwayo olw’Ebibi Ebikolebwa mu Butagenderera

22 (N)“Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna Mukama Katonda g’awadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera, 23 amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja, 24 (O)ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi. 25 (P)Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere. 26 (Q)Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.

27 (R)“Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 28 (S)Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga. 29 Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.

30 (T)“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala. 31 (U)Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”

Amenya Etteeka lya Ssabbiiti Anattibwanga

32 (V)Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti. 33 Abo abaamusanga ng’atyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna, 34 (W)ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera. 35 (X)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.” 36 Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Amatanvuuwa ag’Okujuukirirangako

37 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 38 (Y)“Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu. 39 (Z)Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe. 40 (AA)Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe. 41 Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze Mukama Katonda wammwe.”

Okwewaggula kwa Koola ne Dasani ne Abiraamu

16 (AB)Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula (AC)ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. (AD)Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”

(AE)Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi. (AF)N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali. Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo, enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”

Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi! (AG)Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza? 10 (AH)Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye? 11 (AI)Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”

12 Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! 13 (AJ)Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge? 14 (AK)Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”

Musa Asabira Abantu

15 (AL)Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”

16 (AM)Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni. 17 Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.” 18 Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 (AN)Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye. 20 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 21 (AO)“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”

22 (AP)Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”

23 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24 “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”

Ekibonerezo ky’Abajeemu

25 Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. 26 (AQ)N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” 27 Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. 28 (AR)Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. 29 (AS)Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye. 30 (AT)Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”

31 (AU)Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32 (AV)ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34 Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”

35 (AW)Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.

36 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 37 “Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala. 38 (AX)Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”

39 Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto, 40 (AY)kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.

Kawumpuli mu Bantu

41 Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.” 42 (AZ)Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka. 43 Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44 Mukama n’agamba Musa nti, 45 “Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.

46 (BA)Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.” 47 (BB)Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra; 48 (BC)n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa. 49 (BD)Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko. 50 Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.

Makko 6:1-29

Nnabbi Tabulwa Kitiibwa Okuggyako Ewaabwe

(A)Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.[a] (B)Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?” (C)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.

(D)Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.” (E)Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. (F)N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.

Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri

(G)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.

N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” 10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11 (H)Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”

12 (I)Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” 13 (J)Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.

14 (K)Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”

15 (L)Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.”

N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.”

16 Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.”

17 (M)Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza. 18 (N)Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.” 19 Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza. 20 (O)Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.

21 (P)Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya. 22 Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga.

Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.” 23 (Q)Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!”

24 Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”

25 Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”

26 Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe. 27 Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe, 28 n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina. 29 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.