Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 26-27

Emikisa Egiva mu Buwulize

26 (A)“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe. (B)Mukwatenga Ssabbiiti zange, era n’ebifo byange ebitukuvu mubissengamu ekitiibwa. Nze Mukama Katonda.

(C)“Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange n’obwegendereza, (D)nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. (E)Munaawuulanga okutuusa ku makungula g’emizabbibu, n’okukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera eby’okusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe.

(F)“Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo. Munaawonderanga abalabe bammwe ne mubatta n’ekitala ne mubawangula. (G)Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe n’ekitala.

(H)“Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga. 10 (I)Munaabanga mukyalya ku makungula ag’omwaka oguyise ne mugafulumya olw’amakungula amaggya. 11 (J)Ekifo kyange eky’okubeeramu nnaakiteekanga mu mmwe, era omutima gwange teguubatamwenga. 12 (K)Nnaatambuliranga mu mmwe, era nnaabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 13 (L)Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, mulyoke mukome okuba abaddu b’Abamisiri; namenya ebikoligo byammwe ne mbasobozesa okutambula nga mwesimbye.

Ebibonerezo ebiva mu Bujeemu

14 (M)“Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna, 15 era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, 16 (N)kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. 17 (O)Ndibeefuukira, abalabe bammwe n’okubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka n’okudduka so nga tewali abagoba. 18 (P)Oluvannyuma lw’ebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olw’ebibi byammwe. 19 (Q)Amalala gammwe n’emputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ng’ekyuma, n’ettaka ne likaluba ng’ekikomo. 20 (R)Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egy’omu nsi yammwe okubala ebibala byagyo.

21 (S)“Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana. 22 (T)Era ndibasindikira ensolo ez’omu nsiko, ezinaalyanga abaana bammwe, ne zizikiriza ente zammwe n’omuwendo gwammwe ne gukendeera, nga n’enguudo zammwe tewakyali azitambuliramu.

23 (U)“Era okukangavvula okwo bwe kutaabakyusenga kudda gye ndi, naye ne mweyongera okujeema, 24 kale, nange ndibalaga obukambwe, era nze kennyini ndibeebonerereza emirundi musanvu olw’ebyonoono byammwe. 25 (V)Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olw’okumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era n’abalabe bammwe banaabawangulanga. 26 (W)Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga.

27 “N’ebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga; 28 nange nnaabasunguwaliranga, nze kennyini ne mbeebonerereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe. 29 (X)Mulirya batabani bammwe ne bawala bammwe. 30 (Y)Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa. 31 (Z)Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, n’ebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era n’akaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga. 32 (AA)Ensi yammwe ndigifuula ddungu n’abalabe bammwe abanaagibeerangamu ne bagyewuunya. 33 (AB)Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa. 34 (AC)Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo. 35 Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba n’okuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako.

36 (AD)“Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera. 37 (AE)Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe. 38 (AF)Mulisaanawo mu mawanga; ensi z’abalabe bammwe ziribamira. 39 (AG)N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe.

Okuzza obuggya Endagaano

40 (AH)“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe n’ebyonoono bya bakitaabwe n’obunnanfuusi bwabwe gye ndi n’obujeemu bwabwe, 41 (AI)ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe, 42 (AJ)kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka n’endagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira n’ensi yaabwe. 43 Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange. 44 (AK)Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe. 45 (AL)Naye ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, be naggya mu nsi ey’e Misiri nga n’amawanga gonna galaba ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze Mukama.”

46 (AM)Ago ge mateeka n’ebiragiro n’amateeka amakulu Mukama ge yakolera abaana ba Isirayiri, nga bwe yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi.

Obweyamo eri Mukama

27 Awo Mukama n’agamba Musa nti, (AN)“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bw’anaakolanga obweyamo obw’enjawulo obw’okuwaayo abantu eri Mukama naye ng’asasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bw’oti: (AO)omusajja aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’amakumi abiri n’enkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano[a], nga sekeri z’omu watukuvu bwe ziba, naye bw’anaabanga omukazi onoomusaliranga sekeri amakumi asatu[b]. Omuntu aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’ettaano n’amakumi abiri, bw’anaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri[c] naye omukazi sekeri kkumi[d]. (AP)Bw’anaabanga omwana ng’ali wakati w’omwezi gumu n’emyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano[e] eza ffeeza nga mulenzi, naye omuwala sekeri za ffeeza ssatu[f]. Omuntu bw’anaabanga ow’emyaka egy’obukulu nkaaga n’okusingawo, omusajja onoomusaliranga sekeri kkumi na ttaano[g] n’omukazi sekeri kkumi. (AQ)Omuntu eyakola obweyamo bw’anaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ng’ageraageranya obusobozi bw’oyo eyeeyama nga bwe bunaabanga.

Obweyamo Obukwata ku Bisolo

“Obweyamo bw’omuntu bwe bunaabeeranga obw’ekisolo ekikkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ng’ekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu. 10 (AR)Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bw’anaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri ky’awanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu. 11 Ensolo omuntu gy’anaabanga yeeyamye bw’eneebanga etali nnongoofu[h], etakkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ensolo eyo esaanira okuleetebwanga eri kabona, 12 ye alyokenga asalewo nga bw’eri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gw’anaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo. 13 (AS)Nannyini nsolo bw’anaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo.

Obweyamo Obukwata ku Nnyumba ne ku Ttaka

14 “Omusajja bw’anaawangayo ennyumba ye okubeera entukuvu eri Mukama Katonda kabona anaagirabiranga omuwendo ogugigyamu, oba nnungi oba mbi. Omuwendo ogwo kabona gw’anaasalanga gwe gunaakolanga. 15 (AT)Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bw’anaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ng’ennyumba emuddira.

16 “Omusajja bw’anaawangayo ekitundu ky’ettaka lye, lye yasikira, eri Mukama Katonda, omuwendo oguligyamu gunaabalirirwanga nga gwesigamizibwa ku bungi bw’ensigo ezeetaagibwa okusiga ku ttaka eryo ne ziggweerako; ensigo za sayiri ezipimibwamu oma zinaabalirirwangamu sekeri[i] za ffeeza amakumi ataano. 17 Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera by’Omwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli. 18 (AU)Naye bw’anaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ng’agwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, n’omuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako. 19 Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira. 20 Naye bw’anaabanga tayagala kununula nnimiro eyo, oba bw’anaabanga agiguzizza omuntu omulala, kale ng’olwo tekyanunulibwa n’akamu. 21 (AV)Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bw’eneeteebwanga, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng’ennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona.

22 “Omusajja bw’anaawangayo eri Mukama Katonda ennimiro gye yagula, etali ku ttaka lye ery’obwannannyini, 23 kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ng’ekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda. 24 (AW)Mu mwaka gwa Jjubiri, ennimiro eneddizibwanga oyo gwe yagigulako, nga y’oyo eyali nannyini ttaka. 25 (AX)Buli muwendo ogubalirirwa guneesigamizibwanga ku sekeri z’Awatukuvu, nga gera[j] amakumi abiri zivaamu sekeri emu.

Ebintu Ebiwonge

26 (AY)“Tewabanga awaayo omwana gw’ensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana b’ensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda. 27 (AZ)Bw’anaabanga awaddeyo emu ku nsolo ezitali nnongoofu, anagisasuliranga omuwendo gwayo ogwagibalirirwamu, ng’agattako ekitundu kimu kyakutaano eky’omuwendo gwayo. Bw’ataaginunulengayo eneetundwanga omuwendo ogwagibalirirwamu.

28 (BA)“Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda. 29 Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa.

Okununula Ebitundu Eby’ekkumi

30 (BB)“Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda. 31 Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo. 32 (BC)Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda. 33 (BD)Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”

34 (BE)Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yawa Musa ku lusozi Sinaayi agategeeze abaana ba Isirayiri.

Makko 2

Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba

Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. (A)Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. (B)Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. (C)Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, (D)“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10 (E)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 (F)Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

Yesu Ayita Leevi

13 (G)Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza. 14 (H)Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera. 15 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde, 16 (I)abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?” 17 (J)Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”

Yesu Bamubuuza ku by’Okusiiba

18 (K)Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” 19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? 20 (L)Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba. 21 Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa. 22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

23 (M)Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 24 (N)Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.” 25 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 26 (O)bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.” 27 (P)N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 28 (Q)Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.