Old/New Testament
Ekiragiro ku Mbaga ey’Okuyitako
9 (A)Awo Mukama n’ayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti, 2 “Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa. 3 (B)Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.”
4 Bw’atyo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako; 5 (C)era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 (D)Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini, 7 ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”
8 (E)Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.”
9 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 10 (F)“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda. 11 (G)Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa. 12 (H)Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira. 13 (I)Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe.
14 (J)“ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ”
Ekire Waggulu w’Eweema
15 (K)Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro. 16 Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro. 17 (L)Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira. 18 Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe. 19 Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula. 20 Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga. 21 Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula. 22 Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula. 23 Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa.
Amakondeere Aga Ffeeza
10 Mukama n’agamba Musa nti, 2 (M)“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. 3 Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 4 (N)Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. 5 (O)Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. 6 (P)Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. 7 (Q)Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.
8 (R)“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. 9 (S)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 10 (T)Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Okuva mu Sinaayi
11 (U)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (V)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
14 (W)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (X)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
18 (Y)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (Z)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
22 (AA)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.
25 (AB)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29 (AC)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30 (AD)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 (AE)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (AF)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu
33 (AG)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (AH)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35 (AI)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,
“Golokoka, Ayi Mukama!
Abalabe bo basaasaane;
amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
36 (AJ)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,
“Komawo, Ayi Mukama,
eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
Abantu Beemulugunya
11 (AK)Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. 2 (AL)Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. 3 (AM)Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.
Emmaanu
4 (AN)Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! 5 (AO)Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. 6 Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
7 (AP)Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. 8 Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. 9 (AQ)Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.
Musa Asaba Ennyama
10 Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 11 (AR)Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 12 (AS)Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 13 (AT)Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 (AU)Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 15 (AV)Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”
Mukama Ayanukula Musa
16 Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 (AW)Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.
18 (AX)“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 (AY)naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”
21 (AZ)Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 (BA)Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
23 (BB)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
24 Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. 25 (BC)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
28 (BD)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
29 (BE)Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30 Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.
Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi
31 (BF)Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 33 (BG)Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 34 (BH)Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
35 (BI)Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.
Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni
5 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene. 2 (A)Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo. 3 Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. 4 Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. 5 Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.
6 Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu. 7 (B)N’aleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.” 8 Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.
9 (C)Awo Yesu n’amubuuza nti, “Erinnya lyo ggw’ani?” N’addamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.” 10 N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.
11 Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. 12 Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.” 13 Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
14 Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo. 15 (D)Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16 Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko ddayimooni n’ebyatuuka ku mbizzi. 17 Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!
18 Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna. 19 (E)Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde.” 20 (F)Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli[a] (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.