Old/New Testament
Ebyambalo by’Obwakabona
39 (A)Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ekkanzu ey’obwakabona Ennyimpi Eyitibwa Efodi
2 Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 3 Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu. 4 Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi. 5 Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri. 7 (B)Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ekyomukifuba
8 (C)Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. 9 Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati. 10 Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 11 ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi; 12 ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito; 13 ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu. 14 (D)Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
15 Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka; 16 ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 17 Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 18 Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 19 Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 20 Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 21 Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala
22 Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna. 23 Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika. 24 Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi. 25 Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera; 26 baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27 (E)Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi. 28 (F)Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange, 29 n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:
Mutukuvu wa Mukama.
31 Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.
Okumaliriza omulimu gw’Eweema ya Mukama
32 (G)Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 33 Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa;
Eweema ya Mukama yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
34 ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;
35 (H)essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;
36 emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’olubeerera;
37 (I)ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;
38 (J)ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
39 ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;
ebbensani ne ky’etuulamu;
40 (K)entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,
emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;
ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;
41 ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.
42 (L)Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 43 (M)Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.
Okusimba Eweema ya Mukama
40 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 (N)“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 3 (O)Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi. 4 (P)Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza. 5 (Q)Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.
6 “Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, 7 (R)olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi. 8 Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.
9 (S)“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu. 10 (T)Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11 Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.
12 (U)“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi, 13 (V)n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona. 14 Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona, 15 (W)n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.” 16 Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.
17 (X)Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa. 18 Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo; 19 n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
20 (Y)N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 21 (Z)n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 (AA)N’ayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi, 23 (AB)n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 24 (AC)N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza, 25 (AD)n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
26 (AE)N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi, 27 (AF)n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 28 (AG)N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.
29 (AH)N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 (AI)N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba; 31 Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 32 (AJ)Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 (AK)N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.
Ekitiibwa kya Mukama
34 (AL)Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 35 (AM)Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
36 (AN)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (AO)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
23 (A)“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 24 (B)Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!
25 (C)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.
27 (D)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu,[a] songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri. 28 Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.
29 (E)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30 ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 31 (F)Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 32 (G)Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.
33 (H)“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 34 (I)Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 35 (J)Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 36 (K)Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.
37 (L)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 38 (M)Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 39 (N)Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.