Old/New Testament
Okubala Abantu
1 (A)Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri[a]. N’amugamba nti: 2 (B)“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 3 (C)Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 4 (D)Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.
5 (E)“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:
“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 (F)mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 (G)mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 (H)mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 (I)Okuva mu baana ba Yusufu:
mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 (J)mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 (K)mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 (L)mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 (M)mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
16 (N)Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
Ebika n’obunene bwabyo
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 (O)ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
20 (P)Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
22 (Q)Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
24 (R)Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
26 (S)Ab’omu bazzukulu ba Yuda:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28 (T)Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
30 (U)Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
32 (V)Okuva mu batabani ba Yusufu:
Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
34 (W)Ab’omu bazzukulu ba Manase:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
36 (X)Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
38 (Y)Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40 (Z)Ab’omu bazzukulu ba Aseri:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
42 (AA)Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:
Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
44 (AB)Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 (AC)Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
Abaleevi bo Tebaabalibwa
47 (AD)Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 (AE)Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 (AF)Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 (AG)Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 (AH)Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”
54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Abakulembeze n’Ensiisira z’Ebika Byabwe
2 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 (AI)“Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.”
3 (AJ)Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 4 Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
5 (AK)Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 6 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
7 (AL)Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. 8 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
9 (AM)Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
10 (AN)Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 11 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).
12 (AO)Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 13 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
14 (AP)Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 15 Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
16 (AQ)Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.
17 (AR)Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye.
18 (AS)Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi. 19 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
20 (AT)Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 21 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
22 (AU)Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni. 23 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
24 (AV)Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.
25 (AW)Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 26 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
27 (AX)Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 28 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
29 (AY)Ab’ekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani. 30 Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
31 (AZ)Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri.
32 (BA)Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). 33 (BB)Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bw’atyo Mukama bwe yalagira Musa.
34 Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.
3 (A)Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. 2 (B)Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. 3 Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” 4 N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. 5 Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. 6 (C)Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
Ebibiina Bigoberera Yesu
7 (D)Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. 8 (E)N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. 9 Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 (F)Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 (G)Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 (H)Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.
Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri
13 (I)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 (J)N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 (K)N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
16 (L)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:
Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
18 Andereya,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo
ne Saddayo,
ne Simooni, Omukananaayo,
19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.