Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 14

Abagenge Okufuulibwa Abalongoofu

14 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona. (B)Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge[a] bumuwonyeeko, (C)kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu. Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu w’amazzi amalungi agali mu luggyo. (D)Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi. (E)Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde w’ebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga n’ekibuuka n’ekigenda. (F)Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye. Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.

10 (G)“Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita. 11 Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 (H)Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. 13 (I)Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo. 14 (J)Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 15 Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 16 anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda. 17 Kabona anaddiranga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga ku lukugiro lw’okutu kw’oyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 18 Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali Mukama. 19 Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa, 20 (K)n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu.

21 (L)“Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni; 22 (M)n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa. 23 (N)Ebyo byonna eby’okumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olw’omunaana, ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awali Mukama. 24 (O)Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama. 25 (P)Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo. 26 (Q)Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, 27 n’amansira n’olunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali Mukama. 28 Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo, ng’agasiiga kungulu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 29 (R)Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, n’agasiiga ku mutwe gw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri Mukama. 30 (S)Era anaawangayo, ng’obusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento, 31 (T)ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama. 32 (U)Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.”

Ebigenge mu Mayumba

33 Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 34 (V)“Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo, 35 kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga n’ategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ng’omuli obulwadde.’ 36 Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera. 37 (W)Anaanoonyanga obulwadde we buli; bw’anaabusanganga ku bisenge by’ennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge, 38 (X)olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu. 39 (Y)Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba eyo, 40 (Z)kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 41 Era anaalagiranga ebisenge byonna eby’omu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 42 Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu.

43 “Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya, 44 (AA)kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanye mu nnyumba, ng’ebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu. 45 Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 46 (AB)Ennyumba eyo bw’eneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera ky’eneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 47 (AC)N’omuntu yenna anaasulanga mu nnyumba eyo oba anaaliirangamu, anaayozanga engoye ze.

48 (AD)“Naye kabona bw’anajjanga n’akebera mu nnyumba eyo ng’emaze okukubibwako omusenyu, n’asanga ng’obulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ng’ennyumba eyo bw’eri ennongoofu, kubanga olwo ng’obulwadde bugenze. 49 (AE)Okufuula ennyumba ennongoofu kabona anaddiranga ebinyonyi bibiri n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ekiwero ekimyufu n’ezobu. 50 (AF)Anattiranga ekimu ku binyonyi mu mazzi amalungi mu kibya eky’ebbumba. 51 (AG)Awo anaddiranga akabaawo k’omuti omwerezi n’ezobu, n’ekiwero ekimyufu, n’ekinyonyi ekikyali ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, n’alyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu. 52 Ennyumba anaagifuulanga ennongoofu n’omusaayi gw’akanyonyi, n’amazzi amalungi, n’akanyonyi akalamu, n’akabaawo k’omuti omwerezi, n’ezobu n’ekiwero ekimyufu. 53 (AH)Awo n’afulumya ekinyonyi ekiramu ebweru w’ekibuga n’akiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.”

54 (AI)Ago ge mateeka aganaagobererwanga ku bulwadde bw’ebigenge, omubiri ogusiiwa, 55 (AJ)ebigenge mu ngoye oba mu nnyumba, 56 (AK)oba okubutukabutuka, oba obutulututtu, 57 (AL)okusinziirako okutegeera obanga ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Ago ge mateeka ku bigenge.

Matayo 26:51-75

51 (A)Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

52 (B)Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 (C)Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 (D)Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

55 (E)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 (F)Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

Yesu mu maaso g’Olukiiko

57 (G)Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 (H)Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 (I)Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 (J)Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 (K)abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”

62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 (L)Naye Yesu n’asirika busirisi.

Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”

64 (M)Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 (N)Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 (O)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

67 (P)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 (Q)nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”

Peetero Yeegaana Yesu

69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”

70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”

71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”

72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”

73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”

74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.

75 (R)Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.