Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 7-8

Okutukuza Ekyoto

(A)Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna. (B)Abakulembeze ba Isirayiri, abakulu b’empya za bakitaabwe era nga be bakulembeze b’ebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe. Baaleeta ebirabo byabwe eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga n’ente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya Mukama.

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.”

Bw’atyo Musa n’addira amagaali n’ente n’abiwa Abaleevi. (C)Amagaali abiri n’ente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ng’emirimu gyabwe bwe gyali, (D)n’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona. (E)Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe.

10 (F)Bwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso g’ekyoto olw’okukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 11 Mukama n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.”

Ebiweebwayo bya Nakusoni ne Nesaneri

12 Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow’omu kika kya Yuda.

13 (G)Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza, ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza eky’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani n’ekibya, nga bipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

14 (H)n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

15 (I)ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

16 (J)embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

17 (K)era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.

18 (L)Ku lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, n’aleeta ekiweebwayo kye.

19 Ekirabo kye yaleeta yali

sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

20 (M)n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

21 ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

22 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

23 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.

Ebiweebwayo bya Eriyaabu ne Erizuuli

24 (N)Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye.

25 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

26 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

27 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

28 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

29 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni.

30 (O)Ku lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni, n’aleeta ekiweebwayo kye.

31 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

32 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

33 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

34 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

35 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.

Ebiweebwayo bya Serumiyeeri ne Eriyasaafu

36 (P)Ku lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye.

37 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

38 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

39 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

40 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

41 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.

42 (Q)Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye.

43 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

44 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

45 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

46 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

47 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.

Ebiweebwayo bya Erisaama ne Gamalyeri

48 (R)Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye.

49 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

50 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

51 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

52 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

53 (S)era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi.

54 (T)Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye.

55 Ekiweebwayo kye yali

esowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

56 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

57 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

58 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

59 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

Ebiweebwayo bya Abidaani ne Akiyezeeri

60 (U)Ku lunaku olw’omwenda Abidani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze w’abantu ba Benyamini, n’aleeta ekiweebwayo kye.

61 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

62 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

63 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

64 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

65 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni.

66 (V)Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye.

67 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

68 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

69 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

70 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

71 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.

Ebiweebwayo bya Pagiyeeri ne Akira

72 (W)Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye.

73 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

74 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

75 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

76 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

77 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani.

78 (X)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze w’abantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye.

79 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

80 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa;

81 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

82 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

83 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani.

84 (Y)Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni:

essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri. 85 Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali. 86 Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya.

87 Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi.

88 (Z)Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga.

Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni.

89 (AA)Awo Musa bwe yayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Ne lyogera naye.

Ekikondo ky’Ettaala

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (AB)“Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”

Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. (AC)Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.

Obulongoofu bw’Abaleevi

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (AD)“Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu. (AE)Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu. (AF)Balagire baweeyo ente ya sseddume ento n’ekiweebwayo ekigenderako eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; n’oluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olw’ekiweebwayo olw’ekibi. (AG)Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna. 10 (AH)Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo. 11 (AI)Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.

12 (AJ)“Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi. 13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.

Abaleevi Bayawulwa ku Bantu

14 (AK)“Bw’otyo bw’onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.

15 (AL)“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16 (AM)Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri. 17 (AN)Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange. 18 (AO)Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo ky’ababereberye mu baana ba Isirayiri. 19 (AP)Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”

20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 21 (AQ)Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu. 22 Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

23 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24 (AR)“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; 25 naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza. 26 Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”

Makko 4:21-41

21 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (B)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (C)Alina amatu agawulira awulire. 24 (D)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (E)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”

Olugero lw’Ensigo Ekula

26 (F)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (G)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

30 (H)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

33 (I)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (J)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.

Yesu Akkakkanya Omuyaga

35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 36 (K)N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

40 (L)N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.