Old/New Testament
5 (A)“Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. 2 (B)Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. 3 (C)Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. 4 Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo.
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. 6 (D)Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.
7 (E)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola.
8 (F)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. 9 (G)Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. 10 (H)Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. 11 (I)Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda. 12 (J)Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.
13 (K)“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze Mukama nkyogeredde mu buggya.
14 (L)“Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. 15 (M)Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Mukama nkyogedde. 16 (N)Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. 17 (O)Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”
Obubaka eri Ensozi za Isirayiri
6 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti, 2 (P)“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, 3 (Q)oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. 4 (R)Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. 5 (S)Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. 6 (T)Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. 7 Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.
8 (U)“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. 9 (V)Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10 Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.
11 (W)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 12 (X)Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. 13 (Y)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. 14 (Z)Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”
Enkomerero Etuuse
7 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 2 (AA)“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:
“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse
ku nsonda ennya ez’ensi.
3 Enkomerero ebatuuseeko
era ndibasumulurira obusungu bwange,
ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri
era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
4 (AB)Siribatunuulira na liiso lya kisa
newaakubadde okubasonyiwa;
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,
n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.
Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
5 (AC)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu
laba kujja.
6 Enkomerero etuuse,
enkomerero etuuse!
Ebagolokokeddeko
era ejja.
7 (AD)Akabi kabajjidde,
mmwe abatuuze.
Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,
olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
8 (AE)Nnaatera okubalaga obusungu bwange,
n’ekiruyi kyange.
Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,
ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
9 Siribatunuulira na liiso lya kisa
newaakubadde okubasonyiwa.
Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri
n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.
Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.
10 (AF)“ ‘Olunaku luuluno
lutuuse.
Akabi kabajjidde,
obutali bwenkanya bumeze,
n’amalala gamulisizza.
11 (AG)Obusungu bweyongedde
ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;
tewaliba n’omu alisigalawo;
tewaliba n’omu ku kibiina
newaakubadde ku byobugagga byabwe,
newaakubadde eky’omuwendo.
12 (AH)Ekiseera kituuse,
n’olunaku lutuuse.
Agula aleme okusanyukirira,
n’oyo atunda aleme okunakuwala,
kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13 (AI)Atunda taliddizibwa
kintu kye yatunda,
bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.
Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna
so tekukyajulukuka.
Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu
aliwonya obulamu bwe.
14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere
ne bateekateeka buli kimu,
tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,
kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
15 (AJ)Ebweru waliyo ekitala
ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.
Abali ku ttale
balifa kitala,
abali mu kibuga
balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
16 (AK)N’abo abaliwonawo
baliddukira mu nsozi,
nga bakaaba nga bukaamukuukulu
obw’omu biwonvu,
buli omu olw’ebibi bye.
17 (AL)Emikono gyonna giriremala,
n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
18 (AM)Balyambala ebibukutu,
ne bakwatibwa ensisi;
baliswala,
n’emitwe gyabwe girimwebwa.
19 (AN)“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,
ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
tebiriyinza kubalokola
ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.
Era tebalikkuta
newaakubadde okukkusibwa.
Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
20 (AO)Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,
era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo
n’ebintu ebirala eby’ekivve,
era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
21 (AP)Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga
n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago
era balibyonoona.
22 (AQ)Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,
era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;
n’abanyazi balikiyingiramu
ne bakyonoona.
23 (AR)“ ‘Muteeketeeke enjegere
kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,
n’ekibuga kijjudde effujjo.
24 (AS)Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,
ne batwala ennyumba zaabwe,
era ndikomya amalala gaabwe
n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 (AT)Entiisa bw’erijja,
balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
26 (AU)Akabi kalyeyongera ku kabi,
ne ŋŋambo ne zeeyongera;
balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,
naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula
n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
27 (AV)Kabaka alikaaba,
n’omulangira alijjula obuyinike,
n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.
Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,
era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.
Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
Katonda akangavvula abaana be
12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 (D)Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (E)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
7 (F)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 (G)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 (H)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (I)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 (J)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 (K)Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 (L)era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Okulabulwa obutagaana Katonda
14 (M)Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama. 15 (N)Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. 16 (O)Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu. 17 (P)Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.
18 (Q)Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga, 19 (R)n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira. 20 (S)Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.” 21 Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”
22 (T)Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye, 23 (U)n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa, 24 (V)n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.
25 (W)Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula? 26 (X)Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.” 27 (Y)Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.
28 (Z)Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. 29 (AA)Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.