Old/New Testament
Ebibbo by’Emitiini
24 (A)Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. 2 (B)Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
3 (C)Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. 6 (D)Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. 7 (E)Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
8 (F)“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. 9 (G)‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. 10 (H)Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Emyaka Nsanvu egy’Obusibe
25 (I)Ekigambo ekikwata ku bantu bonna aba Yuda ne kijjira Yeremiya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ogwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza mu bwakabaka bwa Babulooni. 2 (J)Awo Yeremiya nnabbi n’agamba abantu bonna aba Yuda n’abantu bonna abaali mu Yerusaalemi nti, 3 (K)Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda, gy’emyaka amakumi abiri mu esatu okutuusa leero, ekigambo kya Mukama kizze gye ndi era njogedde gye muli emirundi mingi, naye temufuddeeyo.
4 (L)Newaakubadde nga Mukama abaweerezza bannabbi be emirundi mingi, temuwulirizza wadde okufaayo. 5 Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna. 6 (M)Temugoberera bakatonda balala, temubaweereza wadde okubasinza; temunsunguwaza olw’ekyo emikono gyammwe kye gyakola, nneme okubakolako obulabe.”
7 (N)“Naye temwampuliriza, mwansunguwaza n’ekyo kye mwakola n’emikono gyammwe, era ne mwereetera akabi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
8 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Kubanga temuwulirizza bigambo byange, 9 (O)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala. 10 (P)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala. 11 (Q)Ensi eno yonna ejja kufuuka matongo, n’amawanga gano gajja kuweereza kabaka w’e Babulooni emyaka nsanvu.
12 (R)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama. 13 “Ndireeta ku nsi eno ebintu byonna bye njogeddeko, ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku muzingo guno era ne Yeremiya byategeezezza amawanga gano gonna. 14 (S)Bo bennyini balifuulibwa baddu ba mawanga mangi era baddu ba bakabaka ab’ekitiibwa; ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri n’emirimu gy’emikono gyabwe bwe giri.”
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
15 (T)Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 16 (U)Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”
17 (V)Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;
18 (W)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 20 (X)n’abagwira bonna abaaliyo;
bakabaka ba Uzi bonna,
ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,
21 (Y)n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,
22 (Z)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;
23 (AA)Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,
24 (AB)ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;
25 (AC)ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;
26 (AD)n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.
Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.
27 (AE)“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 29 (AF)Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’
30 (AG)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,
“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (AH)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
bw’ayogera Mukama.
32 (AI)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”
33 (AJ)Mu kiseera ekyo abo abattiddwa Mukama bajja kubeera buli wamu okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala. Tebajja kukungubagirwa wadde okukuŋŋaanyizibwa oba okuziikibwa, naye banaaba ng’obusa obulekeddwa ku ttaka.
34 (AK)Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.
35 (AL)Abasumba tebaabeeko na buddukiro,
n’abakulu b’ebisibo tebaabeeko na wa kwekweka.
36 Muwulire okukaaba kw’abasumba,
okwaziirana kw’abanannyini b’ebisibo,
kubanga Mukama alizikiriza amalundiro gaabwe.
37 Amalundiro amalungi galifuuka matongo
olw’obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
38 (AM)Ajja kuleka ekisulo kye
ng’empologoma bw’eva w’esula,
n’ensi yaabwe ejja kusigala njereere olw’ekitala ky’omulumbaganyi
era n’olw’obusungu bwa Mukama obw’entiisa.
Yeremiya Atiisibwatiisibwa okuttibwa
26 (AN)Awo Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga yakalya obwakabaka, ekigambo kino kyajja okuva eri Mukama. 2 (AO)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Mukama oyogere eri abantu bonna ab’ebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya Mukama. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na ky’olekayo. 3 (AP)Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe. 4 (AQ)Bagambe, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde, 5 (AR)era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko, 6 (AS)ndifuula enju eno nga Siiro era n’ekibuga kino ng’ekintu eky’okukolimirwa mu mawanga ag’ensi.’ ”
7 Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo bino mu nnyumba ya Mukama. 8 Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! 9 (AT)Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya Mukama nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
10 Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya Mukama ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya Mukama. 11 (AU)Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”
12 (AV)Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “Mukama yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde. 13 (AW)Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere Mukama Katonda wammwe. Olwo Mukama anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko. 14 (AX)Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu. 15 Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima Mukama ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.”
16 (AY)Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.”
17 Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna eky’abantu nti, 18 (AZ)“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’
19 (BA)Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”
20 (BB)Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya Mukama. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno. 21 (BC)Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri. 22 (BD)Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako, 23 ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe n’ekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale.
24 (BE)Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.
Enjigiriza Entuufu
2 (A)Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu. 2 (B)Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.
3 (C)Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, 4 balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. 5 (D)Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.
6 (E)N’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza, 7 (F)mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo. 8 (G)Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.
9 (H)Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya, 10 (I)wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.
11 (J)Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, 12 (K)era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; 13 (L)nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 14 (M)eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. 15 Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.