Old/New Testament
Yerusaalemi Kifuuse Matongo
1 (A)Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!
Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
afuuse omuddu omukazi.
2 (B)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
bafuuse balabe be.
3 (C)Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
mu nnaku ye.
4 (D)Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
naye yennyini ali mu nnaku.
5 (E)Abamuyigganya bafuuse bakama be;
abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
bawambiddwa omulabe.
6 (F)Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
badduse ababagoba.
7 (G)Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
8 (H)Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
9 (I)Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
10 (J)Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11 (K)Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
12 (L)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13 (M)“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
14 (N)“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
15 (O)“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
16 (P)“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
17 (Q)Sayuuni agolola emikono gye,
naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18 (R)“Mukama mutuukirivu,
newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
batwalibbwa mu busibe.
19 (S)“Nakoowoola bannange bannyambe,
naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
baddemu amaanyi.
20 (T)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21 (U)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
lubatuukeko, babeere nga nze.
22 (V)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
n’omutima gwange guzirika.”
2 (W)Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
ku lunaku lwe yasunguwalirako.
2 (X)Mukama azikirizza
abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
n’abamalamu ekitiibwa.
3 (Y)Mu busungu obungi
amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
4 (Z)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
5 (AA)Mukama afuuse ng’omulabe;
azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
6 (AB)Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
anyoomye kabaka ne kabona.
7 (AC)Mukama atamiddwa ekyoto kye,
n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
8 (AD)Mukama yamalirira okumenya
bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
byonna ne biggweerera.
9 (AE)Emiryango gye gisse mu ttaka,
n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
kwolesebwa kuva eri Mukama.
10 (AF)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
bakotese emitwe gyabwe.
11 (AG)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12 (AH)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
mu bifuba bya bannyaabwe.
13 (AI)Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
14 (AJ)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
15 (AK)Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
16 (AL)Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 (AM)Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18 (AN)Kaabirira Mukama
n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
maaso go kuwummula.
19 (AO)Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
20 (AP)“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
mu watukuvu wa Mukama?
21 (AQ)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
era obasse awatali kusaasira.
22 (AR)“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
omulabe wange be yazikiriza.”
Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna
10 (A)Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2 Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 3 (B)Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 4 (C)Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 (D)Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,
“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Naye wanteekerateekera omubiri.
6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
tewabisiima.
7 (E)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
8 (F)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, 9 (G)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10 (H)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 (I)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13 (J)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14 (K)Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 (L)Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 (M)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 (N)Ayongerako kino nti,
“Sirijjukira nate bibi byabwe
newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.