Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 3-4

Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya.

(A)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.

Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. (B)Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, (C)so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. (D)Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. (E)Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. (F)Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” 10 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. 11 (G)Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”

12 (H)Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.” 13 (I)Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi. 14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze. 15 (J)Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.

Okulabula Isirayiri

16 (K)Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 17 (L)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 18 (M)Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 19 (N)Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.

20 (O)“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 21 (P)Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

22 (Q)Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 (R)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.

24 (S)Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 (T)Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 26 (U)Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 27 (V)Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”

Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi

“Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, (W)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

(X)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.

(Y)“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, (Z)Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.

(AA)“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 (AB)Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 (AC)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

14 (AD)Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”

15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”

16 (AE)N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 (AF)kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

Abaebbulaniya 11:20-40

20 (A)Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.

21 (B)Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.

22 (C)Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.

23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

24 (D)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (E)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (F)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (G)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (H)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

29 (I)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

30 (J)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

31 (K)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.

32 (L)Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 33 (M)abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 34 (N)be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 35 (O)Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 36 (P)N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 37 (Q)Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38 n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 39 (R)Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40 Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.