Old/New Testament
Gidyoni ayungula abalwanyi ebikumi bisatu
7 (A)Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole. 2 (B)Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza. 3 (C)Noolwekyo kaakano genda olangirire eri abalwanyi bo nti, ‘Buli mutiitiizi yenna n’oyo akankana, ave ku lusozi luno Gireyaadi addeyo ewuwe.’ ” Abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo omutwalo gumu.
4 (D)Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”
5 Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa. 6 Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
7 (E)Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe n’obuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ng’embwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.” 8 Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe.
Olusiisira lw’Abamidiyaani lwamuli kyemmanga mu kiwonvu. 9 (F)Ekiro ekyo Mukama Katonda n’amulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo. 10 Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo: 11 era bw’onoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni n’omuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lw’Abamidiyaani.” 12 (G)Abamidiyaani, Abamaleki n’Abamawanga amalala ag’ebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ng’enzige; era n’eŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ng’empeke z’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.
13 Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.” 14 Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”
15 (H)Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.” 16 (I)Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.
17 N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola. 18 (J)Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”
Aba Midiyaani balinnyibwa ku nfeete
19 Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja ky’abakuumi, Gidyoni n’abalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa n’ensuwa ze baali bakutte. 20 (K)Ebibinja ebirala nabo ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe, ne bakwata ebitawuliro mu mikono gyabwe egya kkono, n’amakondeere mu mikono gyabwe egya ddyo, ne bafuuwa nga bwe baleekaanira waggulu nti, “Ekitala kya Mukama Katonda era n’ekya Gidyoni.” 21 (L)Buli mulwanyi n’ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira: eggye lyonna ery’Abamidiyaani ne bafubutuka nga bwe baleekaanira waggulu.
22 (M)Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi. 23 (N)Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Aseri n’ekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani. 24 (O)Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.”
Awo abalwanyi bonna ab’omu kika kya Efulayimu ne bakoowoolwa, ne bawamba omugga Yoludaani n’enzizi zonna okutuukira ddala e Besubata. 25 (P)Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.
8 (Q)Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo. 2 Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde? 3 (R)Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.
4 (S)Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka. 5 (T)N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
6 (U)Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?” 7 (V)Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.” 8 (W)Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri[a], n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. 9 (X)Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”
10 (Y)Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde. 11 (Z)Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde. 12 Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.
13 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi. 14 N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu. 15 (AA)Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.” 16 (AB)N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi. 17 (AC)N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga.
18 (AD)N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.” 19 N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.” 20 Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi. 21 (AE)Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”
22 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” 23 (AF)Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.” 24 (AG)Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
25 Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. 26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. 27 (AH)Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
28 (AI)Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. 29 (AJ)Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. 30 (AK)Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. 31 (AL)N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. 32 (AM)Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
33 (AN)Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi[b] katonda waabwe. 34 (AO)Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. 35 (AP)Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.
Abayigirizwa Abaasooka
5 (A)Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti[a] ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, 2 n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. 3 (B)Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.
4 (C)Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”
5 (D)Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.”
6 (E)Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. 7 Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.
8 (F)Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” 9 Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, 10 (G)Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.
Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.” 11 (H)Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.
Yesu Awonya Omusajja Omugenge
12 (I)Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.”
13 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako.
14 (J)Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
15 (K)Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu ly’obuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16 (L)Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula n’alagako mu bifo eteri bantu, okusaba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.