Old/New Testament
1 (A)Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”
2 (B)Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
3 (C)Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni[a] nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.
4 (D)Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba. 5 Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be. 6 Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja[b].
7 (E)Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo. 8 (F)Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala, oluvannyuma ne bakyokya.
9 (G)Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo. 10 (H)Ate Yuda n’alumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
11 (I)Ate n’avaayo n’alumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi. 12 Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.” 13 Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.
14 Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?” 15 N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga. 16 (J)Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.
17 (K)Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma[c]. 18 (L)Era Yuda n’awamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.
19 (M)Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma. 20 (N)Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu. 21 (O)Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
22 N’abasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo. 23 (P)Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga ky’e Beseri edda ekyayitibwanga Luzi. 24 (Q)Abakessi bwe baalaba omusajja ng’ava mu kibuga ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.” 25 (R)Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna. 26 Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
27 (S)Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo. 28 Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo. 29 (T)Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri. 30 Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo. 31 (U)Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu, 32 naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu n’abantu ba Aseri. 33 (V)Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo. 34 (W)Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi. 35 (X)Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo. 36 (Y)Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.
2 (Z)Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; 2 (AA)nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? 3 (AB)Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”
4 Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. 5 Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
6 Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa. 7 Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
8 Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi. 9 (AC)Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.
10 (AD)Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri. 11 (AE)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali. 12 (AF)Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. 13 (AG)Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. 14 (AH)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. 15 Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
16 (AI)Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 (AJ)Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 18 (AK)Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. 19 (AL)Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
20 (AM)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 21 (AN)siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 22 (AO)Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23 Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
3 (AP)Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; 2 Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo. 3 (AQ)Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi. 4 (AR)Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
5 (AS)Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi. 6 (AT)Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
Okufuga kwa Osunieri
7 (AU)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera. 8 (AV)Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana. 9 (AW)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu. 10 (AX)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri. 11 Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
Okufuga kwa Ekudi
12 (AY)Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe. 13 (AZ)Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki[d] ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu. 14 Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
15 (BA)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu. 16 Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 17 (BB)N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. 18 Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse. 19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
20 Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye. 21 Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto; 22 ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika. 23 Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.
24 (BC)Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.” 25 (BD)Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
26 Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri. 27 (BE)Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
28 (BF)N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka. 29 Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka. 30 (BG)Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Samugali
31 (BH)Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.
Okukemebwa kwa Yesu
4 (A)Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 2 (B)n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.
3 Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”
5 (D)Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 (E)Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 (F)Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”
9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Katonda aliragira bamalayika be
bakukuume.
11 (G)Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,
oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”
12 (H)Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13 (I)Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
Yesu Atandika Omulimu gwe mu Ggaliraaya
14 (J)Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 15 (K)N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16 (L)Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 (M)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 (N)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 (O)N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 (P)Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 (R)Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 (S)Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 (T)Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 (U)Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge[a] bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 (V)ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 (W)Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.