Old/New Testament
Ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi Bituula mu Gireyaadi
32 (A)Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. 2 Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, 3 (B)“Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, 4 (C)bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.” 5 Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
6 Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano? 7 (D)Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde? 8 (E)Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi. 9 (F)Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde. 10 (G)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti, 11 (H)‘Olw’okubanga tebaŋŋondedde n’omutima gwabwe gwonna, tewalibaawo n’omu ku basajja ab’emyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egy’obukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; 12 (I)tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi[a], ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’ 13 (J)Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
14 (K)“Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri! 15 (L)Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
Ebika Ebirala Bigabana ku Bugwanjuba bwa Yoludaani
16 (M)Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. 17 (N)Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. 18 (O)Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. 19 (P)Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
20 (Q)Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo, 21 ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge, 22 (R)n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
23 (S)“Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa. 24 (T)Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”
25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde. 26 (U)Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi. 27 Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.”
Ekitundu ky’Ekika kya Manase kisigala mu Gireyaadi
28 (V)Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri. 29 Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe. 30 Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
31 (W)Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bw’atugambye. 32 Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogw’obutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.”
33 (X)Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
34 (Y)Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri, 35 (Z)ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka; 36 (AA)ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola n’ebisibo by’ebisolo byabwe. 37 Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereyale, ne Kiriyasayimu, 38 (AB)ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
39 (AC)Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu. 40 (AD)Bw’atyo Musa n’awa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, n’atuula omwo. 41 (AE)Yayiri mutabani wa Manase n’agenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, n’abutuuma Kavosu Yayiri. 42 (AF)Ne Noba naye n’awamba Kenasi n’obwalo obukyetoolodde, n’akituuma Noba erinnya lye.
Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani
33 (AG)Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. 2 Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
Bino bye bitundu ebyo: 3 (AH)Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; 4 (AI)ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
5 (AJ)Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.
6 (AK)Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.
7 (AL)Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.
8 (AM)Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.
9 (AN)Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
10 Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.
11 (AO)Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.
12 Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.
13 Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.
14 Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.
15 (AP)Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.
16 (AQ)Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.
17 (AR)Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.
18 Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.
19 Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.
20 (AS)Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.
21 Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.
22 Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.
23 Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.
24 Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.
25 Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.
26 Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.
27 Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.
28 Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.
29 Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.
30 (AT)Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.
31 Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.
32 Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.
33 (AU)Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.
34 Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.
35 (AV)Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.
36 (AW)Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.
37 (AX)Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 38 (AY)Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39 Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.
40 (AZ)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.
41 Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42 Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.
43 (BA)Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.
44 (BB)Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.
45 Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.
46 Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.
47 (BC)Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.
48 (BD)Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 49 (BE)Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.
50 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 51 (BF)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 52 (BG)mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 53 (BH)Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 54 (BI)Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.
55 (BJ)“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56 Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”
Ensalo za Kanani
34 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (BK)“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:
3 (BL)“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, 4 (BM)n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, 5 (BN)awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.
6 Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.
7 (BO)Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; 8 (BP)eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, 9 ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.
10 Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 11 (BQ)Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12 Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.
“ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”
13 (BR)Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, 14 (BS)kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. 15 Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”
Abasajja Abaalondebwa Okugabanyaamu Ensi
16 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 17 (BT)“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18 (BU)Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.
19 (BV)“Gano ge mannya gaabwe:
“Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.
20 (BW)Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.
21 (BX)Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.
22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.
23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.
24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.
25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.
26 Palutiyeri mutabani wa Azani
nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,
27 (BY)ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,
28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”
29 Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.
30 Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya. 31 (A)Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 32 (B)Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.
33 (C)Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 34 (D)Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
35 (E)Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.” 36 (F)N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, 37 (G)“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
38 (H)Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
39 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi. 40 (I)Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe. 41 (J)Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
Okwesittaza Abato
42 (K)“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja. 43 (L)Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, 44 mu muliro ogutazikira. 45 (M)Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena 46 envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. 47 (N)Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, 48 (O)n’osuulibwa mu ggeyeena,
“envunyu gye zitafa
n’omuliro gye gutazikira.
49 (P)Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”
50 (Q)“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.