Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 32-34

32 (A)Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
    wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
(B)Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
    n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
    ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
(C)Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
    mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
(D)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
    n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
    omwenkanya era omutereevu mu byonna.
(E)Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
    baswavu era tebakyali baana be,
    wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
(F)Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
    mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
    n’akussaawo n’akunyweza?
(G)Jjukira ebiseera eby’edda,
    fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
    ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
(H)Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
    abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
    ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
(I)Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
    Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 (J)Yamuyisanga mu ddungu,
    mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
    n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 (K)Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
    n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
    n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 (L)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
    so tewabangawo katonda mulala.
13 (M)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
    n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
    n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 (N)ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
    n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
    awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.

15 (O)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 (P)Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
    ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 (Q)Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
    eri bakatonda be batamanyangako,
    bakatonda abaggya abaali baakatuuka
    bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
18 (R)Weerabira Olwazi eyakuzaala,
    weerabira Katonda eyakuzaala.

19 (S)Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako
    kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.
20 (T)N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
    ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
    abaana abatalinaamu bwesigwa.
21 (U)Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,
    ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.
Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,
    ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.
22 (V)Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,
    ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,
gusenkenya ensi n’ebibala byayo,
    ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

23 (W)Nzija kubatuumangako emitawaana
    ne mbayiwangako obusaale bwange.
24 (X)Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,
    n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;
ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu
    n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.
25 (Y)Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
    ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
    abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
26 (Z)Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya
    wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
27 (AA)Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,
    kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,
ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde,
    Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”

28 Lye ggwanga omutali magezi,
    mu bo temuliimu kutegeera.
29 (AB)Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,
    ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.
30 (AC)Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,
    oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,
wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,
    Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
    abalabe baffe bakiriziganya naffe.
32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,
    n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;
ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,
    ebirimba byazo bikaawa;
33 (AD)wayini waazo bwe butwa bw’emisota
    obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.

34 (AE)Ekyo saakyeterekera,
    nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?
35 (AF)Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.
    Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,
obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,
    n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
36 (AG)Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,
    alisaasira abaweereza be,
bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,
    omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
37 (AH)N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,
    olwazi mwe beekweka.
38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,
    ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?
Basituke bajje babayambe,
    kale babawe obubudamo babakuume!

39 (AI)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
    Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
    nfumita era ne mponya;
    era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
    ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna
41 (AJ)bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,
    n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,
nnaawalananga abalabe bange,
    ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.
42 (AK)Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,
    n’ekitala kyange kirirya ennyama,
n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,
    n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.
43 (AL)Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,
    kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,
aliwalana abalabe be,
    era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.

44 (AM)Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. 45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, 46 (AN)n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. 47 (AO)Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”

Okufa kwa Musa Kulangibwa

48 Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, 49 (AP)“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 50 (AQ)Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. 51 (AR)Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. 52 (AS)Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo

33 (AT)Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. (AU)Yagamba nti,

Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
    n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
    yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
    okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
(AV)Mazima gw’oyagala abantu,
    abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.
Bavuunama wansi ku bigere byo
    ne bawulira ebiragiro by’obawa.
(AW)Ge mateeka Musa ge yatuwa
    ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
    abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
    nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.

“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo
    n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”

(AX)Kino kye yayogera ku Yuda:

“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;
    omuleete eri abantu be.
Yeerwaneko n’emikono gye.
    Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”

(AY)Bino bye yayogera ku Leevi:

“Sumimu wo ne Ulimu wo
    biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.
Wamukebera e Masa
    n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(AZ)Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,
    ‘Abo sibafaako.’
Baganda be teyabategeeranga
    wadde okusembeza abaana be;
baalabiriranga ekigambo kyo
    ne bakuumanga endagaano yo.
10 (BA)Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo
    ne Isirayiri amateeka go.
Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,
    n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
11 (BB)Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,
    era okkirize emirimu gy’emikono gye.
Okubirenga ddala abo abamugolokokerako
    okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”

12 (BC)Bye yayogera ku Benyamini:

“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,
    Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,
    omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”

13 (BD)Yayogera bw’ati ku Yusufu:

“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,
    n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu
    n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,
    n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
15 (BE)n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,
    n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
16 (BF)n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,
    n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.
Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,
    mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
17 (BG)Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
    amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
    n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
    nga ze nkumi za Manase.”

18 (BH)Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:

“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;
    ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
19 (BI)Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi
    ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,
banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,
    nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”

20 (BJ)Yayogera bw’ati ku Gaadi:

“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,
    Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma
    ng’ayuza omukono n’omutwe.
21 (BK)Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,
    omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.
Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
    ye yabasalira emisango gya Mukama,
    n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”

22 (BL)Yayogera bw’ati ku Ddaani:

“Ddaani mwana gwa mpologoma,
    ogubuuka nga guva mu Basani.”

23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali:

“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda
    era ng’ojjudde emikisa gye,
    onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”

24 (BM)Yayogera bw’ati ku Aseri:

“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,
    ku baganda be gwe babanga basinga okwagala
    era emizabbibu[a] gigimuke nnyo mu ttaka lye.
25 (BN)Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo
    n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.

26 (BO)“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
    eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
    ne ku bire mu kitiibwa kye.
27 (BP)Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
    era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
    n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
28 (BQ)Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,
    ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,
mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,
    eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
29 (BR)Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
    Ani akufaanana,
    ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
    era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
    era onoobalinnyiriranga.”

Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu

34 (BS)Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, (BT)ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, (BU)ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. (BV)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”

(BW)Awo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. (BX)Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. (BY)Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. (BZ)Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.

(CA)Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.

10 (CB)Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. 11 Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, 12 era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.

Makko 15:26-47

26 (A)Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,

“Kabaka w’Abayudaaya.”

27 Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono. 28 Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.” 29 (B)Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu, 30 weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”

31 (C)Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola! 32 (D)Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

33 (E)Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. 34 (F)Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”

35 Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

36 (G)Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”

37 (H)Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.

38 (I)Eggigi[a] ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi. 39 (J)Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”

40 (K)Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose. 41 (L)Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.

Okuziikibwa kwa Yesu

42 (M)Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti, 43 (N)Yusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu. 44 Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda. 45 (O)Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo. 46 (P)Awo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana. 47 (Q)Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.