Old/New Testament
Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
4 (A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2 (B)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3 (C)Aliramula amawanga
atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4 (D)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5 (E)Newaakubadde nga amawanga gonna
galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Isirayiri ewona Obusibe
6 (F)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndikuŋŋaanya abalema,
n’abo abaawaŋŋangusibwa
n’abo abali mu nnaku.
7 (G)Abalema ndibafuula abalonde,
n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
8 (H)Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga,
ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni,
ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira,
n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
9 (I)Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo?
Temulina kabaka abakulembera?
Omuwi w’amagezi wammwe yafa,
ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 (J)Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni
ng’omukazi alumwa okuzaala.
Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga
ogende obeere ku ttale.
Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni,
era eyo gye ndibalokolera.
Ndibanunulira eyo
okuva mu mukono gw’omulabe.
11 (K)Kyokka kaakano amawanga mangi
gakuŋŋaanye okubalwanyisa.
Boogera nti, Ayonoonebwe,
n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 (L)Naye tebamanyi
birowoozo bya Mukama;
tebategeera kuteesa kwe;
oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
13 (M)“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,
kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;
ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo
era olibetenta amawanga mangi.”
Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,
n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
Omufuzi ava mu Besirekemu
5 (N)Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,
kubanga tulumbiddwa.
Omukulembeze wa Isirayiri
balimukuba omuggo ku luba.
2 (O)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
ng’ensi tennabaawo.”
3 Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo
okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,
era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo
eri bannaabwe mu Isirayiri.
4 (P)Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
mu maanyi ga Mukama,
mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
okutuusa ku nkomerero y’ensi.
5 (Q)Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.
Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe
n’abuna ebigo byaffe,
tulimuyimbulira abasumba musanvu,
n’abakulembeze munaana.
6 (R)Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala
era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.
Naye alitulokola eri Omwasuli
bw’alitulumba mu nsi yaffe
era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7 (S)Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera
wakati mu mawanga agabeetoolodde,
babe ng’omusulo oguva eri Mukama,
ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo
obutalindirira muntu
oba abaana b’abantu.
8 (T)Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,
abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;
ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,
bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula
ne wataba n’omu aziwonya.
9 (U)Omukono gwo guliwangula abalabe bo,
ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
10 (V)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“Ndizikiriza embalaasi zo
ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 (W)Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo
era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 (X)Obulogo bwo ndibumalawo
era toliddayo kukolima nate.
13 (Y)N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.
Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;
temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda
be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 (Z)Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,
ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 (AA)Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde
n’obusungu n’ekiruyi.”
Omukazi n’Ogusota
12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. 2 (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. 3 (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. 4 (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. 5 (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. 6 (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7 (F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. 8 Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. 9 (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.
10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,
“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
n’obwakabaka bwa Katonda waffe
awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”
13 (K)Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi. 14 (L)Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera. 15 Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza. 16 Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala. 17 (M)Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana b’omukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu. 18 Ne guyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.