Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 45-46

Okugabanyaamu Ensi

45 (A)“ ‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu. (B)Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga. Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo. (C)Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu. (D)Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu n’obugazi mayilo ssatu kye kiriba eky’Abaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba n’ebisenge amakumi abiri eby’okubeeramu ng’ebyo bye bikola ebibuga byabwe.’

(E)“ ‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’

(F)“ ‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu. (G)Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’

(H)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda. 10 (I)Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika. 11 (J)Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa. 12 (K)Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri n’ogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, n’oyongerako sekeri kkumi na ttaano, n’ewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe.

Ebiweebwayo n’Ennaku Entukuvu

13 “ ‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri. 14 Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri. 15 (L)Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 Abantu bonna ab’omu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri. 17 (M)Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.

18 (N)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu. 19 (O)Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda. 20 (P)Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.

21 (Q)“ ‘Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. 22 (R)Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 23 (S)Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 24 (T)Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa.

25 (U)“ ‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’ 

46 (V)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omulyango ogw’oluggya olw’omunda olutunuulira Ebuvanjuba gunaabanga muggale ennaku mukaaga ezikolerwamu, naye ku lunaku olwa Ssabbiiti ne ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka gunaggulwanga. (W)Omulangira anaayingiriranga mu kisasi okuva ebweru, n’ayimirira awali omufuubeeto ogw’omulyango. Bakabona banaateekateekanga ekiweebwayo kye ekyokebwa n’ebiweebwayo bye olw’emirembe. Anaasinzizanga awayingirirwa ku mulyango; n’oluvannyuma anaafulumanga, naye oluggi teluggalwenga okutuusa akawungeezi. (X)Bwe batyo n’abantu ab’omu nsi bateekwa okusinzizanga ku luggi olw’omulyango mu maaso ga Mukama ku Ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka. Ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky’anaaleetanga eri Mukama ku lunaku olwa Ssabbiiti kinaabanga abaana b’endiga ennume mukaaga nga tebaliiko kamogo n’endiga ennume enkulu emu eteriiko kamogo; (Y)n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo n’endiga ennume kinaabanga kilo kkumi na mukaaga, n’ekiweebwayo eky’obutta ekinaaweebwangayo n’abaana b’endiga ennume binaabanga ebirabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. (Z)Ku lunaku olw’omwezi ogwakaboneka anaawangayo ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’abaana b’endiga mukaaga n’endiga ennume nga nkulu, ebitaliiko kamogo; (AA)era anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke kilo kkumi na mukaaga ku lw’ente ennume, n’eky’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, n’abaana b’endiga nga bye birabo, awamu ne lita nnya ez’amafuta eza buli efa. (AB)Awo omulangira bw’anaayingiranga, anaayitanga mu kisasi ky’omulyango, era mu kkubo lye limu eryo mw’anaafulumiranga.

(AC)“ ‘Abantu ab’omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama ku mbaga ezaalagirwa, buli anaayingiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono okusinza, anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo; ne buli anaayingiriranga mu mulyango ogw’Obukiikaddyo anaafulumiranga mu mulyango ogw’Obukiikakkono; tewaabenga muntu addirayo mu kkubo ery’omulyango mwe yayingiridde, naye anaayitangamu buyisi n’aggukira ku luuyi olwolekera lwe yayingiriddeko. 10 (AD)Omulangira anaabeeranga wakati mu bo, bwe banaayingiranga, naye anaayingiranga, bwe banaafulumanga, naye anaafulumanga. 11 (AE)Ku mbaga ne mu biseera ebyalondebwa bino bye binaabanga ebiweebwayo: ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kya kilo kkumi na mukaaga n’ente ennume emu ne kilo kkumi na mukaaga ez’emmere ey’empeke n’endiga ennume emu, awamu n’abaana b’endiga ng’omuntu bw’anaayinzanga, ng’okwo kw’otadde lita nnya ez’amafuta eza buli efa.

12 (AF)“ ‘Awo omulangira bw’anaateekateekanga ekyo ky’asiimye ku bubwe n’akiwaayo eri Mukama, ng’ekiweebwayo ekyokebwa oba ng’ebiweebwayo olw’emirembe, anaaggulirwangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era nnaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa oba ekiweebwayo kye olw’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti. N’oluvannyuma ng’amaze anaafulumanga, omulyango ne guggalwa.

13 (AG)“ ‘Munaawangayo omwana gw’endiga ogw’omwaka ogumu ogutaliiko kamogo okuba ekiweebwayo eri Mukama buli lunaku; ekyo munaakikolanga buli nkya. 14 (AH)Munaakiweerangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke buli nkya, ekiri kilo bbiri n’obutundu musanvu n’ekitundu awamu ne lita ennya ez’amafuta okunnyikiza obutta obulungi okuwangayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eri Mukama ekya buli lunaku; kinaabanga ekiragiro ekitaliggwaawo. 15 (AI)Noolwekyo omwana gw’endiga n’ekiweebwayo eky’obutta, n’amafuta binaaweebwangayo buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo.

16 (AJ)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Omulangira bw’anaagabiranga omu ku batabani be ekirabo okuva ku by’omugabo gwe, kinaabanga busika bwa bazzukulu be; era nga bwansikirano. 17 (AK)Naye omulangira bw’anaddiranga ekirabo okuva ku by’omugabo gwe n’akiwa omu ku baddu be, kinaabanga kikye okutuuka ku mwaka ogw’eddembe, n’oluvannyuma kinaddizibwanga omulangira kubanga omugabo gunaabanga gugwe n’abaana be bokka. 18 (AL)Omulangira taatwalenga ttaka ly’abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaagabiranga abaana be omugabo gwabwe okuva ku butaka bwe, waleme okubaawo omuntu yenna ku bantu bange aggyibwako obutaka bwe.’ ”

19 (AM)Awo omusajja n’ampisa mu mulyango ku luuyi olw’omulyango wakati w’ebisenge ebitukuvu ebya bakabona olutunuulira Obukiikakkono, n’andaga ekifo ku luuyi olusembayo Ebugwanjuba. 20 (AN)N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era gye banaafumbiranga emigaati egy’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, baleme okubifulumya mu luggya olw’ebweru okutukuza abantu.”

21 N’oluvannyuma omusajja n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’annambuza ensonda ennya ez’oluggya, mu buli nsonda ne ndabamu oluggya olulala. 22 Mu nsonda ennya ez’oluggya mwalimu empya entonotono obuwanvu mita amakumi abiri mu emu n’obugazi mita kkumi na ttaano ne desimoolo musanvu, era nga za kigera kimu. 23 Munda okwetooloola empya mwalimu ebifo eby’okuweesezaamu nga mulimu n’ebyoto wansi w’embu enjuuyi zonna. 24 N’aŋŋamba nti, “Gano ge mafumbiro abaweereza gye banaafumbiranga sssaddaaka abantu ze banaawangayo mu yeekaalu.”

1 Yokaana 2

Kristo Omuwolereza Waffe

(A)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. (B)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. (C)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. (D)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. (E)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. (F)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

(G)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. (H)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.

Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (I)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (J)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

12 Baana bange abaagalwa,
    mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 (K)Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
    kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
    kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
    kubanga mutegedde Kitaffe.

14 (L)Mbawandiikidde mmwe abakulu
    kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
    kubanga muli ba maanyi
    era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
    era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

15 (M)Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 (N)Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 (O)Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.

Omulabe wa Kristo

18 (P)Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse. 19 (Q)Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.

20 (R)Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna. 21 (S)Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima. 22 (T)Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. 23 (U)Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

24 (V)Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe. 25 Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.

26 (W)Mbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba. 27 (X)Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

28 (Y)Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.

29 (Z)Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.