Old/New Testament
Ebigambo ba Aguli
30 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:
Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2 Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
sirina kutegeera kwa bantu.
3 (A)Siyize magezi,
so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 (B)Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?
Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
Mbulira obanga obimanyi.
5 (C)Buli kigambo kya Katonda kya mazima,
era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 (D)Toyongeranga ku bigambo bye,
alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.
7 Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,
tobinnyimanga nga sinnafa:
8 (E)Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 (F)Nneme okukkutanga ne nkwegaana
ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10 Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,
alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
11 (G)Waliwo abo abakolimira bakitaabwe
ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 (H)abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,
ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 (I)Waliwo abo ab’amalala amayitirivu,
abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 (J)n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,
n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,
okusaanyaawo abaavu mu nsi,
n’abo abali mu kwetaaga.
15 (K)Ekinoso kirina bawala baakyo babiri
abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”
Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,
weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 (L)Amagombe,
olubuto olugumba,
ettaka eritakutta mazzi,
n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17 (M)Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
ne liriibwa ensega.
18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,
weewaawo bina bye sitegeera:
19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,
n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,
n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,
n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.
20 (N)Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
alya n’asiimuula emimwa gye
n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu
weewaawo bina:
22 (O)omuweereza bw’afuuka kabaka,
n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23 n’omukazi eyadibira mu ddya;
n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.
24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,
ebirina amagezi amangi ennyo.
25 (P)Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,
naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 (Q)obumyu busolo bunafu
naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 (R)enzige tezirina kabaka,
kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28 omunya oyinza okugukwasa engalo,
naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,
weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31 sseggwanga,
n’embuzi ennume,
ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
32 (S)Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
weekomeko weekwate ku mumwa.
33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.
Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza
31 (T)Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
2 (U)Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
3 (V)Tomaliranga maanyi go ku bakazi,[a]
newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
4 (W)Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
si kya bakabaka okunywanga omwenge,
so si kya balangira okwegombanga omwenge,
5 (X)si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
6 (Y)Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
7 (Z)Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
8 (AA)Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,
otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
9 (AB)Yogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Omukazi ow’Amagezi
10 (AC)Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
11 (AD)Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
obulamu bwe bwonna.
13 (AE)Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
15 Agolokoka tebunnakya,
n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,
n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula;
asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
engalo ze ne zikwata akati akalanga.
20 (AF)Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.[b]
23 (AG)Bba amanyibbwa,
y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
n’aguza abasuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
era tatya ebiro ebigenda okujja.
26 (AH)Ayogera n’amagezi,
era ayigiriza ebyekisa.
27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
era talya mmere ya bugayaavu.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
naye bonna ggwe obasinga.”
30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
31 (AI)Mumusasule empeera gy’akoleredde,
n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.
Pawulo n’abatume ab’obulimba
11 (A)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 2 (B)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 3 (C)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 4 (D)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5 Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 6 (E)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.
7 (F)Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 8 (G)Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 9 (H)era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 (I)Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 (J)Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 (K)Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 15 (L)Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.