Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 10-12

Engero za Sulemaani

10 (A)Engero za Sulemaani:

Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
    naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

(B)Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
    naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

(C)Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
    naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.

(D)Emikono emigayaavu gyavuwaza,
    naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
    naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.

(E)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.

(F)Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
    naye erinnya ly’omubi linaavundanga.

(G)Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
    naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

(H)Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
    naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

10 (I)Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
    n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

11 (J)Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

12 (K)Obukyayi buleeta enjawukana,
    naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

13 (L)Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
    naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.

14 (M)Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
    naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.

15 (N)Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
    naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.

16 (O)Empeera y’omutuukirivu bulamu,
    naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.

17 (P)Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
    naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
    era omuntu akonjera, musirusiru.

19 (Q)Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
    naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
    naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.

21 (R)Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
    naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.

22 (S)Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
    era tagwongerako buyinike.

Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama

23 (T)Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,
    naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.

24 (U)Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
    naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.

25 (V)Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
    naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.

26 (W)Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
    n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.

27 (X)Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
    naye emyaka gy’ababi girisalibwako.

28 (Y)Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
    naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.

29 (Z)Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.

30 (AA)Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
    naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.

31 (AB)Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
    naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.

32 (AC)Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
    naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.

11 (AD)Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
    naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

(AE)Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
    naye obwetoowaze buleeta amagezi.

(AF)Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,
    naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.

(AG)Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
    naye obutuukirivu buwonya okufa.

(AH)Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu
    naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.

Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,
    naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.

(AI)Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,
    ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.

(AJ)Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,
    naye jjijjira omukozi w’ebibi.

Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,
    naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.

10 (AK)Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;
    abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.

11 (AL)Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:
    naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.

Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo

12 (AM)Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,
    naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.

13 (AN)Aseetula olugambo atta obwesigwa,
    naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.

14 (AO)Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,
    naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

15 (AP)Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona,
    naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.

16 (AQ)Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,
    naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.

17 Omusajja alina ekisa aganyulwa,
    naye alina ettima yeereetako akabi.

18 (AR)Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa,
    naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.

19 Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu,
    naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.

20 (AS)Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu,
    naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.

21 (AT)Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa,
    naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.

22 Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi,
    bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.

23 Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,
    naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.

Omuntu Omugabi

24 Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;
    naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.

25 (AU)Omuntu agaba anagaggawalanga,
    n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

26 Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,
    naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.

27 (AV)Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,
    naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.

28 (AW)Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,
    naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.

29 (AX)Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
    era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.

30 (AY)Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
    era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.

31 (AZ)Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
    oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?

12 (BA)Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;
    naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.

Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
    naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.

(BB)Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
    naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.

(BC)Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
    naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
    naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.

(BD)Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
    naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.

(BE)Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
    naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.

Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,
    naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.

Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,
    asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.

10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
    naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.

11 (BF)Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,
    naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.

12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,
    naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.

13 (BG)Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,
    naye omutuukirivu awona akabi.

14 (BH)Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,
    n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.

15 (BI)Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
    naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.

16 (BJ)Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,
    naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.

17 (BK)Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,
    naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.

18 (BL)Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
    naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.

19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,
    naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,
    naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.

21 (BM)Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,
    naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.

22 (BN)Mukama akyawa emimwa egirimba,
    naye asanyukira ab’amazima.

23 (BO)Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,
    naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.

24 (BP)Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,
    naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

25 (BQ)Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,
    naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.

26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,
    naye ekkubo ly’ababi libabuza.

27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,
    naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.

28 (BR)Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,
    era mu kkubo eryo temuli kufa.

2 Abakkolinso 4

Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba

(A)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. (B)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. (C)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. (D)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (E)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. (F)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

(G)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. (H)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

13 (I)Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera. 14 (J)Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15 (K)Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.

Okuba abalamu olw’okukkiriza

16 (L)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17 (M)Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18 Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.