Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 57-59

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

57 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
    kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
    okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

(B)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
    Katonda atuukiriza bye yantegekera.
(C)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
    n’amponya abo abampalana.
    Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

(D)Mbeera wakati mu mpologoma,
    nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
    Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

(E)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

(F)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
    ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
    ate bo bennyini ne babugwamu.

(G)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
    omutima gwange munywevu.
    Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
(H)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
    Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
    ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
    ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (I)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 (J)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.

58 (K)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
    Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
(L)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
    era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
    bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
(M)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
    bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
n’etawulira na luyimba lwa mukugu
    agisendasenda okugikwata.

(N)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
    owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
(O)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
    Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
(P)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
    Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!

(Q)Nga n’entamu tennabuguma,
    alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (R)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
    olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (S)Awo abantu bonna balyogera nti,
    “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
    Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.

59 (T)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
    onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
(U)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
    era ondokole mu batemu.

(V)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
    Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
    so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
(W)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
    Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
(X)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
    golokoka obonereze amawanga gonna;
    abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

(Y)Bakomawo buli kiro,
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
(Z)Laba, bwe bavuma!
    Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
    nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
(AA)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
    era amawanga ago gonna oganyooma.

(AB)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10     Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
    ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (AC)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
    abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
    n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (AD)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
    n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
    leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13     (AE)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
    bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
    nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14 Bakomawo nga buwungedde
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
15 (AF)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
    ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (AG)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
    mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
    era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
    kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

Abaruumi 4

Ibulayimu Yaweebwa Obutuukirivu lwa Kukkiriza

Kale kiki kye tunaayogera ku jjajjaffe Ibulayimu ku bikwata ku by’omubiri? (A)Singa Ibulayimu yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, yandyenyumirizza, naye si eri Katonda. (B)Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

(C)Omuntu bw’akola omulimu, asasulwa empeera ye. Empeera gy’aweebwa, teba kirabo. Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye. Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gw’awa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ng’agamba nti:

“Baweereddwa omukisa,
    abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe,
    ne baggyibwako ebibi byabwe.
(D)Aweereddwa omukisa omuntu,
    Mukama gw’atalibalira kibi.”

(E)Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu. 10 Kale, kwamubalirwa kutya? Ng’akomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ng’akomolebbwa naye nga tannakomolebwa. 11 (F)Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu. 12 Ate era ye jjajja w’abantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo ery’okukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

13 (G)Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza. 14 (H)Kale obanga baweebwa obusika lw’amateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga n’ekisuubizo tekirina makulu. 15 (I)Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.

16 (J)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (K)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.

18 (L)Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.” 19 (M)Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba. 20 (N)Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 21 (O)Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza, 22 (P)era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. 23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” 24 (Q)naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. 25 (R)Kristo yaweebwayo okuttibwa olw’ebibi byaffe, n’azuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.