Old/New Testament
1 (A)Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2 Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3 Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 (B)okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 (C)N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 (D)Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.
7 (E)Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Amagezi eri Abavubuka
8 (F)Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 (G)bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
10 (H)Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
tokkirizanga.
11 (I)Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
tunyage, tubbe n’okutta;
tokkirizanga;
12 (J)ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,
tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 (K)Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 (L)Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 (M)Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
Okulabula Eri Abanyooma Amagezi
20 (N)Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 (O)Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 (P)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 (Q)kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 (R)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 (S)Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 (T)Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 (U)Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 (V)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (W)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.
Empeera y’Okunoonya Amagezi
2 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 (X)era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 (Y)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 (Z)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 (AA)Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 (AB)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 (AC)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (AD)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 (AE)Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 (AF)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 (AG)abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 (AH)abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16 (AI)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (AJ)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (AK)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (AL)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
Okuyamba Abantu ba Katonda
16 (A)Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. 2 (B)Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 3 (C)Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. 4 Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
Enteekateeka za Pawulo
5 (D)Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. 6 Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. 7 Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. 8 (E)Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. 9 Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
10 (F)Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 (G)Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 (H)Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Ebikomererayo
13 (I)Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
15 (J)Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17 (K)Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko[a] bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18 (L)Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
19 (M)Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.
Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 (N)Era abooluganda bonna babalamusizza.
Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
21 (O)Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
22 (P)Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
23 (Q)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.