Old/New Testament
Erifaazi Addamu
22 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (A)“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
4 (B)“Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 (C)Okwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 (D)Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 (E)Tewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 (F)wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 (G)Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 (H)Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?
12 (I)“Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 (J)Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 (K)Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 (L)Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 (M)Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 (N)Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 (O)Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 (P)‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
21 (Q)“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 (R)Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 (S)n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 (T)awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 (U)Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 (V)Olimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28 Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 (W)Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 (X)Alinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
Yobu Ayanukula
23 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (Y)“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,
omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3 Singa nnali mmanyi aw’okumusanga
nandisobodde okulaga gy’abeera!
4 (Z)Nanditutte empoza yange gy’ali,
akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5 Nanditegedde kye yandinzizeemu,
ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6 (AA)Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?
Nedda, teyandinteeseko musango.
7 (AB)Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,
era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8 “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;
ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9 (AC)Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,
bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10 (AD)Naye amanyi amakubo mwe mpita,
bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11 (AE)Ebigere byange bimugoberedde;
ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12 (AF)Saava ku biragiro by’akamwa ke.
Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13 (AG)“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?
Akola kyonna ekimusanyusa.
14 (AH)Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,
era bingi byategese by’akyaleeta.
15 Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;
bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16 (AI)Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,
Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17 (AJ)Naye ekizikiza tekinsirisizza,
ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”
24 (AK)“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2 (AL)Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
ne balunda ebisolo bye babbye.
3 (AM)Batwala endogoyi ya mulekwa
ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4 (AN)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5 (AO)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6 Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7 (AP)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
tebalina kye beebikka mu mpewo.
8 (AQ)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9 (AR)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (AS)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
13 (AT)“Waliwo abo abajeemera omusana,
abatamanyi makubo ge,
abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (AU)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
ekiro abbira ddala.
15 (AV)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
n’abikka ne ku maaso ge.
16 (AW)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
kyokka emisana baba beggalidde.
Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (AX)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (AY)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (AZ)Olubuto lunaamwerabiranga;
envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (BA)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (BB)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (BC)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (BD)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25 (BE)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Peetero Annyonnyola
11 (A)Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. 2 (B)Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, 3 (C)nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?”
4 Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba 5 (D)nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. 6 Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 7 Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’
8 “Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
9 (E)“Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.
11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 (F)Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 (G)ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’
15 (H)“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 (I)Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 (J)Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
18 (K)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.”
Ekkanisa mu Antiyokiya
19 (L)Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. 20 (M)Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. 21 (N)Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
22 (O)Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. 23 (P)Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. 24 (Q)Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
25 (R)Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, 26 (S)bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
Balunabba ne Sawulo Batumibwa mu Yerusaalemi
27 Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi. 28 (T)Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo. 29 (U)Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola, 30 (V)ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.