Old/New Testament
Zofali Addamu
20 Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,
2 “Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu
kubanga nteganyizibbwa nnyo.
3 (A)Mpulidde nga nswadde olw’okunenya,
okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.
4 “Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5 (B)nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
6 (C)Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7 (D)alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
8 (E)Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
9 (F)Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
taliddayo kulaba kifo kye nate.
10 (G)Abaana be basaana bakolagane n’abaavu,
emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11 (H)Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 “Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13 (I)tayagala kukuleka,
wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14 Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15 Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16 (J)Alinywa obutwa bw’ensweera;
amannyo g’essalambwa galimutta.
17 (K)Alisubwa obugga,
n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18 Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19 (L)kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
yawamba amayumba g’ataazimba.
20 (M)“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21 (N)Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22 Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
alibonaabonera ddala nnyo.
23 (O)Ng’amaze okujjuza olubuto lwe,
Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24 (P)Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25 (Q)Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26 (R)Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
gwokye ebisigadde mu weema ye.
27 (S)Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28 (T)Ebintu by’ennyumba biritwalibwa,
biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29 (U)Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”
Yobu Ayanukula
21 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
2 “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,
era kino kibazzeemu amaanyi.
3 (V)Mungumiikirizeeko nga njogera,
oluvannyuma museke.
4 (W)“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5 (X)Muntunuulire mwewuunye,
mujja kukwata ne ku mumwa.
6 Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
omubiri gwange ne gukankana.
7 (Y)Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8 (Z)Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
ezzadde lyabwe nga balaba.
9 (AA)Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 (AB)Ennume zaabwe teziremererwa,
ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11 Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
obuto ne bubeera mu kuzina.
12 (AC)Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,
ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13 (AD)Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
mangwago ne bakka mu ntaana.
14 (AE)Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
Tetwegomba kumanya makubo go.
15 (AF)Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16 Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
17 (AG)“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 (AH)Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 (AI)Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 (AJ)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 (AK)Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22 (AL)“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 (AM)omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 (AN)Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28 (AO)Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30 (AP)nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32 Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33 (AQ)Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34 (AR)“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Peetero mu maka ga Koluneeriyo
24 (A)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (B)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (C)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33 Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
34 (D)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (E)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (F)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (G)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (H)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (I)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (J)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (K)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (L)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 45 (M)Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 46 (N)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.
Awo Peetero n’agamba nti, 47 (O)“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 48 (P)Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.