Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NLT. Switch to the NLT to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 17:1-18:12

Koseya, Kabaka eyasembayo owa Isirayiri

17 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.

(B)Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. (C)Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. (D)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi

(E)Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, (F)ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. (G)Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 (H)Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama. 12 (I)Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 13 (J)Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”

14 (K)Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. 15 (L)Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.

16 (M)Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 17 (N)Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.

18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.[b] 19 (O)Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 20 (P)Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.

21 (Q)Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23 okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.

Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli

24 (R)Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 25 (S)Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma[c] ne zitta abamu ku bo. 26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo,[d] kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”

27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.

29 (T)Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 (U)Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 (V)Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33 Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.

34 (W)Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 (X)Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 (Y)Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 (Z)Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 (AA)Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39 Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”

40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 (AB)Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

Keezeekiya Kabaka wa Yuda

18 (AC)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. (AD)Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, n’erinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya. (AE)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. (AF)N’aggyawo ebifo ebigulumivu n’amenyaamenya amayinja amoole, n’atema n’empagi eza Baasera. N’amenyaamenya omusota ogw’ekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.

(AG)Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba n’omu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira. (AH)N’anywerera ku Mukama, n’ataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa. (AI)Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza. (AJ)N’awangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza n’okutuuka ku nsalo zaakyo.

(AK)Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza. 10 Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 11 (AL)Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi, 12 (AM)kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, n’ebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.

Ebikolwa by’Abatume 20

Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani

20 (A)Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, (B)n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. (C)Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. (D)Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. (E)Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.

Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa

(F)Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! (G)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 (H)Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 (I)Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.

13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 (J)Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 (K)Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.

17 (L)Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 18 (M)Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 19 (N)nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 20 (O)Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 21 (P)nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.

22 (Q)“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 23 (R)Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 24 (S)Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.

25 (T)“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 26 (U)Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 27 (V)kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 28 (W)Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 29 (X)Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 30 (Y)Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 31 (Z)Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.

32 (AA)“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 33 (AB)Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 34 (AC)Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”

36 (AD)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 (AE)Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 (AF)nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.

Zabbuli 148

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.

Engero 18:6-7

Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
    era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.

(A)Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
    era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.