Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 9:14-10:31

Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya

14 (A)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba. 15 (B)Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.” 16 (C)N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.

17 (D)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”

Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

18 Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”

19 Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”

20 (E)Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”

21 (F)Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. 22 (G)Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?” 23 (H)Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”

24 (I)Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye. 25 (J)Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako. 26 (K)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”

27 (L)Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira. 28 (M)Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. 29 (N)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya n’atandika okufuga Yuda.

Okufa kwa Yezeberi

30 (O)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa. 31 (P)Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”

32 Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. 33 (Q)N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.

34 (R)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (S)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. 37 (T)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”

Ezadde lya Akabu Littibwa

10 (U)Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya[a] eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti, “Amangwago ng’ebbaluwa eno ebatuuseeko, ng’abaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali n’embalaasi, era n’ekibuga kiriko enkomera n’ebyokulwanyisa, mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.” Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri[b] tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?”

(V)Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.”

Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.”

Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo. (W)Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri. Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.” Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna? 10 (X)Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.” 11 (Y)Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu.

12 Awo Yeeku n’asitula n’ayolekera Samaliya. N’asisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi n’ennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya, 13 (Z)n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.” 14 N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu.

15 (AA)Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu[c] ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”

Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali. 16 (AB)Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye.

17 (AC)Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.

Okuttibwa kw’Abaweereza ba Baali

18 (AD)Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo. 19 (AE)Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.

20 (AF)Yeeku n’alagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira. 21 Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali[d], ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala. 22 Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo. 23 Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.” 24 (AG)Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.”

25 (AH)Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali. 26 (AI)Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. 27 (AJ)Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

28 (AK)Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri. 29 (AL)Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.

30 (AM)Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.” 31 (AN)Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.

Ebikolwa by’Abatume 17

Pawulo mu Sessaloniika

17 (A)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. (B)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. (C)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” (D)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.

(E)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. (F)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, (G)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. (H)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.

Pawulo mu Beroya

10 (I)Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe. 11 (J)Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima. 12 Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.

13 Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina. 14 (K)Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. 15 (L)Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.

Pawulo mu Asene

16 Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala. 17 (M)N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale. 18 (N)Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.” 19 (O)Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago[a] nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya, 20 kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.” 21 Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.

22 Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; 23 (P)kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:

Kya Katonda Atamanyiddwa.

Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.

24 (Q)“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, 25 (R)era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna. 26 (S)Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago. 27 (T)Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. 28 (U)Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’ 

29 (V)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. 30 (W)Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. 31 (X)Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

32 (Y)Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.” 33 Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe. 34 (Z)Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Engero 17:27-28

27 (A)Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,
    n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.

28 (B)Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,
    era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.