The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.
32 (A)Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira 33 (B)ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi ey’e Gireyaadi mu bitundu eby’Abagaadi, n’Abalewubeeni, n’Abamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni n’okuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani.
34 (C)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, n’ebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri?
35 Yeeku n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we n’amusikira. 36 Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.
Asaliya ne Yekoyaasi
11 (D)Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna. 2 (E)Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi[a] n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa. 3 N’abeera mu yeekaalu ya Mukama n’omukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga y’afuga ensi.
4 (F)Mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka. 5 (G)N’abawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka, 6 n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo; 7 n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka. 8 Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bw’anaafulumanga ne bw’anaayingiranga.”
9 Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona. 10 (H)Kabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, 11 buli mukuumi n’ayimirira n’ebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olw’obukiikaddyo okutuuka ku luuyi olw’obukiikakkono.
12 (I)Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 13 Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abakuumi n’olw’abantu, n’alaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama. 14 (J)Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”
15 (K)Amangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 16 (L)Ne bakwata Asaliya, ng’anaatera okuyita mu mulyango gw’embalaasi w’eziyingira mu luggya lw’olubiri, ne bamuttira awo.
17 (M)Awo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu. 18 (N)Abantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo.
Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama. 19 (O)Awo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka, 20 (P)abantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.
21 Yekoyaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.
Yekoyaasi Addaabiriza Yeekaalu
12 (Q)Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi. 2 Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. 3 (R)Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.
4 (S)Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama, 5 n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”
6 Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu. 7 Awo kabaka Yekoyaasi[b] n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.” 8 Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.
9 (T)Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama. 10 (U)Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka. 11 N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 12 (V)Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.
13 (W)Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama; 14 kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu. 15 (X)Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa. 16 (Y)Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.
17 (Z)Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 18 (AA)Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.
19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 (AB)Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro. 21 Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.
Pawulo mu Kkolinso
18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso. 2 (B)Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi. 3 (C)Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo. 4 (D)Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
5 (E)Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. 6 (F)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
7 Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro. 8 (G)Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
9 Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! 10 (H)Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.” 11 Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 (I)Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. 13 Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.” 14 Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. 15 (J)Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.” 16 Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. 17 (K)Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
Pulisikira ne Akula
18 (L)Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze. 19 (M)Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. 20 Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza. 21 (N)N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso. 22 (O)Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru
18 Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
era tawuliriza magezi gamuweebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.