The Daily Audio Bible
Today's audio is from the GNT. Switch to the GNT to read along with the audio.
Nadabu Kabaka wa Isirayiri
25 Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 (A)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.
27 (B)Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28 Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.
29 (C)Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 30 (D)olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.
31 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 32 (E)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.
Baasa Kabaka wa Isirayiri
33 Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34 (F)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.
16 (G)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti, 2 (H)“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe. 3 (I)Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa n’ennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ng’eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 4 (J)Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”
5 (K)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu n’ebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 6 (L)Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa e Tiruza, mutabani we Era n’amusikira, n’alya obwakabaka.
7 (M)Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo.
Era Kabaka wa Isirayiri
8 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri. 9 (N)Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza. 10 Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.
11 (O)Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye. 12 Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku, 13 (P)olw’ebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola n’okwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 14 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Zimuli Kabaka wa Isirayiri
15 (Q)Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti. 16 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, n’atta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi w’eggye okuba kabaka wa Isirayiri. 17 Omuli n’Abayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza. 18 Zimuli bwe yalaba ng’ekibuga kiwambiddwa, n’addukira mu lubiri olw’omunda, olubiri lwonna n’alukumako omuliro. N’afiira omwo. 19 Ekyo kyamutuukako olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, n’okutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.
20 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Omuli Kabaka wa Isirayiri
21 Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli. 22 Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka.
23 (R)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza. 24 (S)Yagula olusozi lw’e Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, n’aluzimbako ekibuga, n’akituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi.
25 (T)Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka. 26 (U)N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 27 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, n’ebyobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 28 Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya; Akabu n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Akabu alya Obwakabaka bwa Isirayiri
29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 (V)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (W)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (X)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 (Y)Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.
34 (Z)Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.
Bannamuŋŋoona Baliisa Eriya
17 (AA)Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.”
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, 3 “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 4 (AB)Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”
5 N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. 6 (AC)Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga.
Nnamwandu ow’e Zalefaasi
7 Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi. 8 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 9 (AD)“Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” 10 (AE)Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.” 11 Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.” 12 (AF)N’addamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.”
13 Eriya n’amugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bw’ogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu by’olina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe n’omwana wo. 14 Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ”
15 N’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu n’amaka ge. 16 Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
17 Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. 18 (AG)Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”
19 Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu[a] gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. 20 N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” 21 (AH)Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”
22 Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. 23 Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”
24 (AI)Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”
Peetero mu maka ga Koluneeriyo
24 (A)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (B)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (C)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33 Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”
34 (D)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (E)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (F)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (G)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (H)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (I)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (J)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (K)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (L)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 45 (M)Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 46 (N)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.
Awo Peetero n’agamba nti, 47 (O)“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 48 (P)Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.
9 (A)Okwagala tekulondoola nsobi,
naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.
10 Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,
okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.
11 Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,
era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.