The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.
Abakazi ba Sulemaani
11 (A)Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, 2 (B)nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. 3 Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. 4 (C)Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. 5 (D)N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 6 Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7 (E)Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[a] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 8 Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. 9 (F)Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 (G)Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11 (H)Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 (I)Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”
Abalabe ba Sulemaani
14 Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 15 (J)Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16 Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17 Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 18 (K)Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.
19 Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20 Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.
21 Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”
22 Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”
23 (L)Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba. 24 (M)Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira. 25 (N)Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.
Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani
26 (O)Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 27 (P)Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 28 (Q)Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 29 (R)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 30 (S)Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 31 (T)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32 Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 33 (U)Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.
34 “ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35 Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 36 (V)Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 37 (W)Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 38 (X)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39 Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”
40 (Y)Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki[b] kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.
Okufa kwa Sulemaani
41 Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42 Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 43 (Z)N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.
Isirayiri Bajeemera Lekobowaamu
12 Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. 2 (AA)Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo. 3 Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti, 4 (AB)“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”
5 Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.
6 (AC)Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”
7 (AD)Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”
8 Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza. 9 N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”
10 Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”
12 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu. 13 Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa, 14 (AE)n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.” 15 (AF)Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
16 (AG)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,
“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”
Awo Abayisirayiri[c] ne beddirayo ewaabwe. 17 (AH)Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.
18 (AI)Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 (AJ)Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.
Okukyuka kwa Sawulo
9 (A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 2 (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 3 (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4 N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 6 (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 (E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8 Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9 N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (P)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (Q)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (R)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (S)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
4 Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 (A)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.