Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 22:1-23:23

Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza

22 (A)Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. (B)N’ayogera nti,

Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
    (C)Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
    ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
    ggwe ondokola eri abantu ababi.
(D)Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
    n’andokola eri abalabe bange.

(E)“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(F)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(G)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    n’okukaaba kwange kwamutuukako.

(H)“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
    emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
    ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
(I)Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
    n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
    n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 (J)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 (K)Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
    n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 (L)Okumasamasa okwali mu maaso ge
    kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 (M)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
    Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 (N)Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
    n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 (O)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.

17 (P)“Yasinzira waggulu n’antwala
    n’ansika mu mazzi amangi.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
    abo abaali bansinza amaanyi.
19 (Q)Bannumba mu nnaku yange
    naye Mukama n’ampanirira.
20 (R)Yandeeta mu kifo ekigazi;
    yandokola kubanga yansanyukira.

21 (S)Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
    n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 (T)Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
    era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 (U)Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
    era ssaava ku biragiro bye.
24 (V)Sizzanga na musango mu maaso ge,
    era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 (W)Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.

26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
    n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 (X)eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
    n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 (Y)Olokola abantu abawombeefu,
    naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 (Z)Oli ttaala yange, Ayi Mukama
    era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 Ku lulwe mpangula eggye,
    era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 (AA)Ekkubo lya Katonda golokofu,
    n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
    abaddukira gy’ali.
32 (AB)Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
    era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 Katonda kye kiddukiro kyange,
    era alongoosa ekkubo lyange.
34 (AC)Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
    era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 (AD)Anteekateeka okulwana entalo,
    era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 (AE)Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
    ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 (AF)Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
    n’obukongovvule bwange tebukoonagana.

38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
    so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 (AG)Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
    era bali wansi w’ebigere byange.
40 (AH)Wampa amaanyi okulwana entalo,
    n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 (AI)Waleetera abalabe bange okunziruka,
    ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 (AJ)Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
    ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 (AK)Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
    ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.

44 (AL)“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
    n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45     (AM)Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
    bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 (AN)Bonna baggwaamu omwoyo,
    ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.

47 (AO)Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
    Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 (AP)Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
    era ateeka amawanga wansi wange;
49     (AQ)anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
    n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 (AR)Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 (AS)Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
    era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
    eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero

23 (AT)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:

ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
    Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
    omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

(AU)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
    ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
(AV)Katonda wa Isirayiri yayogera,
    olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
    n’afugira mu kutya Katonda,
(AW)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
    enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
    ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
(AX)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
    Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
    n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
    n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
(AY)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
    kizibu okugakwata n’engalo.
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
    oba olunyago lw’effumu,
    era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi

Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.

(AZ)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.

13 (BA)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (BB)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (BC)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (BD)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

18 (BE)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.

20 (BF)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.

Ebikolwa by’Abatume 2

Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote

(A)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. (B)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. (C)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

(D)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. (E)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? (F)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (G)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”

13 (H)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”

Okwogera kwa Peetero

14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (I)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

17 (J)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
    bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
    n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (K)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
    ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
    baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
    n’obubonero ku nsi wansi,
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (L)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (M)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
    alirokolebwa.’ 

22 (N)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (O)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (P)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (Q)Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
    kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
    Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (R)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
    so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
    era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

29 (S)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (T)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (U)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (V)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (W)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (X)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’

36 (Y)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

37 (Z)Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”

38 (AA)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 39 (AB)Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”

40 (AC)Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41 Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.

Obulamu bw’Abakkiriza

42 (AD)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 43 (AE)Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 44 (AF)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (AG)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (AH)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 47 (AI)nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.

Zabbuli 122

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
    “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
Ebigere byaffe biyimiridde
    mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba
    ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
Eyo ebika byonna gye biraga,
    ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
    ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
    z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

(A)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
    “Abo abakwagala bafune ebirungi.
Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
    n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
Olwa baganda bange ne mikwano gyange
    nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
(B)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Engero 16:19-20

19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
    kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.

20 (A)Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,
    era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.