Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NRSVUE. Switch to the NRSVUE to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okukungubaga 1-2

Yerusaalemi Kifuuse Matongo

(A)Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!

Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
    nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
    afuuse omuddu omukazi.

(B)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
    n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
    talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
    bafuuse balabe be.

(C)Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
    oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
    talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
    mu nnaku ye.

(D)Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
    kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
    bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
    naye yennyini ali mu nnaku.

(E)Abamuyigganya bafuuse bakama be;
    abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
    olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
    bawambiddwa omulabe.

(F)Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
    kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
    ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
    badduse ababagoba.

(G)Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
    Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
    bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
    tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
    ne bamusekerera olw’okugwa kwe.

(H)Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
    bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
    kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
    era akwatibwa ensonyi.

(I)Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
    teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
    tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
    kubanga omulabe awangudde.”

10 (J)Omulabe yagololera omukono
    ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
    nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
    okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.

11 (K)Abantu be bonna basinda
    nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
    okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
    kubanga nnyoomebwa.”

12 (L)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
    mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
    obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
    ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.

13 (M)“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
    ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
    n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
    nga nzirise olunaku lwonna.

14 (N)“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
    bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
    era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
    be siyinza kugumiikiriza.

15 (O)“Mukama anyoomye
    abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
    okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
    ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.

16 (P)“Kyenva nkaaba,
    amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
    ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
    kubanga omulabe awangudde.”

17 (Q)Sayuuni agolola emikono gye,
    naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
    baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
    ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

18 (R)Mukama mutuukirivu,
    newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
    mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
    batwalibbwa mu busibe.

19 (S)“Nakoowoola bannange bannyambe,
    naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
    bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
    baddemu amaanyi.

20 (T)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

21 (U)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
    naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
    basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
    lubatuukeko, babeere nga nze.

22 (V)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
    nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
    n’omutima gwange guzirika.”
(W)Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
    ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
    okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
    ku lunaku lwe yasunguwalirako.

(X)Mukama azikirizza
    abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
    ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
    n’abamalamu ekitiibwa.

(Y)Mu busungu obungi
    amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
    n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
    bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.

(Z)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
    era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
    mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
    obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

(AA)Mukama afuuse ng’omulabe;
    azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
    n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
    okweyongera okukaaba n’okukungubaga.

(AB)Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
    era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
    embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
    anyoomye kabaka ne kabona.

(AC)Mukama atamiddwa ekyoto kye,
    n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
    era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
    nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.

(AD)Mukama yamalirira okumenya
    bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
    Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
    byonna ne biggweerera.

(AE)Emiryango gye gisse mu ttaka,
    n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
    eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
    kwolesebwa kuva eri Mukama.

10 (AF)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
    batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
    era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
    bakotese emitwe gyabwe.

11 (AG)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
    n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
    olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
    wakati mu nguudo ez’omu kibuga.

12 (AH)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
    “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
    mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
    mu bifuba bya bannyaabwe.

13 (AI)Nnyinza kugamba ki,
    era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
    ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
    okukusanyusa ggwe
    Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
    kale ani ayinza okukiwonya?

14 (AJ)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
    kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
    okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
    zaali za bulimba era eziwabya.

15 (AK)Bonna abayitawo
    babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
    omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
    ekituukiridde,
    era essanyu ly’ensi zonna?”

16 (AL)Abalabe bo bonna
    baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
    nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
    kaakano lutuukiridde, era tululabye.”

17 (AM)Mukama akoze kye yateekateeka,
    era atuukirizza ekigambo kye
    kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
    aleetedde omulabe wo okukusekerera,
    n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.

18 (AN)Kaabirira Mukama
    n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
    Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
    emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
    maaso go kuwummula.

19 (AO)Golokoka, okaabe ekiro
    obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
    mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
    olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
    mu buli luguudo.

20 (AP)“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
    Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
    abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
    mu watukuvu wa Mukama?

21 (AQ)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
    mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
    battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
    era obasse awatali kusaasira.

22 (AR)“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
    bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
    tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
    omulabe wange be yazikiriza.”

Firemooni

(A)Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa, (B)ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Okusaba n’okwebaza

(C)Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda, (D)kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna. Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo. (E)Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.

Pawulo yeegayiririra Onesimo

Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola, (F)naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu; 10 (G)nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe, 11 Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi, 12 gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako, 13 oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira, 14 (H)naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira. 15 Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, 16 (I)nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.

17 (J)Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize. 18 Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko. 19 Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange. 20 (K)Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo. 21 (L)Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo! 22 (M)Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.

Okusiibula

23 (N)Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.

24 (O)Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.

25 (P)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.

Zabbuli 101

Zabbuli ya Dawudi.

101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
    nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
    naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
    nga siriiko kya kunenyezebwa.
(B)Sijjanga kwereetereza kintu
    kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
    sijjanga kubyeteekako.
(C)Sijjanga kuba mukuusa;
    ekibi nnaakyewaliranga ddala.

(D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
    nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
    sijja kubigumiikirizanga.

(E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
    balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
    y’anamperezanga.

Atayogera mazima
    taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
    sirimuganya kwongera kubeera nange.

(F)Buli nkya nnaazikirizanga
    abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
    mu kibuga kya Mukama.

Engero 26:20

20 (A)Enku bwe zibula omuliro guzikira,
    awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.