The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NRSVUE. Switch to the NRSVUE to read along with the audio.
54 (A)“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
eddoboozi ery’okuzikirira okunene
okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 (B)Mukama alizikiriza Babulooni,
alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 (C)Omuzikiriza alirumba Babulooni;
abalwanyi be baliwambibwa,
n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
alisasula mu bujjuvu.
57 (D)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
58 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
59 (F)Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 (G)Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 (H)Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 (I)Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”
Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.
Okugwa kwa Yerusaalemi
52 (J)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 2 (K)Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. 3 (L)Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
4 (M)Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. 5 Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.
6 (N)Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. 7 Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. 8 Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. 9 (O)N’akwatibwa.
Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 (P)Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 (Q)N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
12 (R)Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi. 13 (S)Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya. 14 (T)Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi. 15 Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. 16 (U)Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
17 (V)Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni. 18 (W)Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu. 19 (X)Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.
20 (Y)Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika. 21 (Z)Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka. 22 (AA)Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga. 23 (AB)Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.
24 (AC)Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. 25 Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 26 (AD)Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. 27 (AE)Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.
Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.
28 (AF)Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse:
mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:
Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;
29 mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza,
n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;
30 mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu,
Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka.
Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.
Yekoyakini Asumululwa
31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 33 (AG)Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. 34 (AH)Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.
Okuwabula abakkiriza
3 (A)Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2 (B)Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
3 Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. 4 (C)Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 5 (D)n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 6 (E)gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7 (F)Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 8 (G)Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
9 (H)Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. 10 (I)Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, 11 kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.
12 (J)Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. 13 (K)Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.
14 (L)Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
15 (M)Bonna abali nange bakulamusizza.
Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
18 Ng’omulalu akasuka
emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne,
n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.