The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.
Katonda ne bakatonda abalala
10 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Temugobereranga makubo g’amawanga
oba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,
kubanga amawanga ge byeraliikirira.
3 (B)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
4 (C)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
5 (D)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
6 (E)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 (F)Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 (G)Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 (H)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (I)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu
11 (J)“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
12 (K)Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
13 (L)Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
era tebiriimu bulamu.
15 (M)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
16 (N)Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Okuzikirira Okujja
17 (O)Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
mmwe abazingiziddwa.
18 (P)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba nfuumuula abantu
mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
balyoke bawambibwe.”
19 (Q)Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange
ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
20 (R)Eweema yange eyonooneddwa,
era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
kuzimba weema yange
wadde okuzimba ekigango kyange.
21 (S)Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
22 (T)Wuliriza!
Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.
Okusaba kwa Yeremiya
23 (U)Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
24 (V)Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
si mu busungu bwo,
si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
25 (W)Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
agatakutwala ng’ekikulu,
ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
bamuliiridde ddala
era ne boonoona ensi ye.
Yuda Amenye Endagaano
11 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. 2 Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. 3 (X)Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno 4 (Y)bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, 5 (Z)ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”
6 (AA)Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. 7 (AB)Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” 8 (AC)Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”
9 (AD)Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 10 (AE)Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 11 (AF)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 12 (AG)Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 13 (AH)Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’
14 (AI)“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.
15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?
Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?
Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”
16 (AJ)Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
amatabi gaagwo gakutuke.
17 (AK)Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.
18 Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. 19 (AL)Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,
“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,
ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,
erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”
20 (AM)Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.
21 (AN)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.” 22 (AO)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. 23 (AP)So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”
18 (A)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (B)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (C)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
Ebiragiro Ebirala
4 Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. 2 (D)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga 3 (E)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. 4 Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. 5 (F)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. 6 (G)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
7 (H)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 8 (I)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 9 (J)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 (K)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (L)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (M)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (N)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (O)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 (P)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 (Q)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
56 Naye era ne bakema Katonda;
ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (A)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (B)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (C)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (D)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (E)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (F)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (G)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 (H)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (I)N’akuba abalabe be ne badduka;
n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (J)naye n’alonda ekika kya Yuda,
lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (K)Yalonda Dawudi omuweereza we;
n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (L)Ave mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (M)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.