The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NET. Switch to the NET to read along with the audio.
Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya
7 (A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.
2 (B)Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, 3 (C)n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.
4 (D)“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
5 (E)“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
6 (F)“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
7 (G)“N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.
8 (H)“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
9 (I)“Era nga nkyali awo ne ndaba,
“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,
n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,
n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.
Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,
ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
10 (J)Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,
nga gukulukutira awo mu maaso ge.
Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,
n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.
Okuwozesa emisango ne kutandika,
ebitabo ne bibikkulwa.
11 (K)“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa. 12 Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
13 (L)“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge. 14 (M)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
Amakulu g’Ekirooto
15 (N)“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza. 16 (O)Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna.
“N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti, 17 ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. 18 (P)Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
19 “Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo. 20 Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo. 21 (Q)Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula, 22 okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
23 (R)“N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. 24 (S)Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu. 25 (T)Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
26 “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. 27 (U)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
28 (V)“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”
Kigambo Aleeta Obulamu
1 (A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. 2 (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. 3 (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. 4 (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
Okutambulira mu Musana
5 (E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. 6 (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. 7 (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. 8 (H)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. 9 (I)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (J)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
ר Leesi
153 (A)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
kubanga seerabira mateeka go.
154 (B)Ompolereze, onnunule,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (C)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (D)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (E)Abalabe abanjigganya bangi,
naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (F)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
n’amateeka go ga lubeerera.
ש Sini ne Sikini
161 (G)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (H)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (I)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
tewali kisobola kubeesittaza.
166 (J)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
mbyagala nnyo nnyini.
168 (K)Buli kye nkola okimanyi,
era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
ת Taawu
169 (L)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (M)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (N)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (O)Omukono gwo gumbeerenga,
kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (P)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (Q)Ompe obulamu nkutenderezenga,
era amateeka go gampanirirenga.
176 (R)Ndi ng’endiga ebuze.
Onoonye omuddu wo,
kubanga seerabidde mateeka go.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.