The Daily Audio Bible
Today's audio is from the GNT. Switch to the GNT to read along with the audio.
Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa
18 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,
n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. 4 (B)Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
5 “Emmeeme eyonoona ye erifa,
omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
6 (C)nga talya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
7 (D)omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
naye emmere ye agigabira abayala,
n’ayambaza n’abali obwereere;
8 (E)atawola lwa magoba
newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
era asala emisango egy’ensonga.
9 (F)Agoberera ebiragiro byange,
n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
era aliba mulamu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
10 (G)“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 (H)n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 (I)n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;
omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
14 (J)“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 (K)atanyigiriza muntu yenna
newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
n’abali obwereere
n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.
Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
19 (L)“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 (M)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
21 (N)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 (O)Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 (P)Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
24 (Q)“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
25 (R)“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 (S)Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
30 (T)“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 (U)Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 (V)Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”
Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri
19 (W)Kungubagira abalangira ba Isirayiri, 2 oyogere nti,
“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
n’erabirira abaana baayo.
3 N’ekuza emu ku baana baayo
n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
n’okulya abantu.
4 (X)Amawanga gaawulira ebimufaako,
n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
5 (Y)“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
6 (Z)N’etambulatambula mu mpologoma,
kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
n’okulya abantu.
7 (AA)N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
8 (AB)Awo amawanga gonna ne gagirumba,
okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
9 (AC)Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
n’eteekebwa mu kkomera,
n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
10 (AD)“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 (AE)Amatabi gaagwo gaali magumu,
era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 (AF)Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
era ne gwokebwa omuliro.
13 (AG)Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
awakalu awatali mazzi.
14 (AH)Omuliro gwava ku limu ku matabi,
ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’
Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”
Okusinza ku nsi ne mu ggulu
9 (A)Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. 2 (B)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. 3 (C)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. 4 (D)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. 5 (E)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
6 (F)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. 7 (G)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. 8 (H)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. 9 (I)Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 10 (J)Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.
32 (A)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33 (B)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
34 (C)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (D)naye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36 (E)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37 (F)Baawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (G)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (H)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 (I)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 (J)N’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (K)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 (L)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 (M)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (N)N’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 (O)Ayi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 (P)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”
Mumutendereze Mukama.
10 (A)Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.